Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya ba Advent omuggya Omusumba Samuel Kajoba, atuuziddwa wakati mu Ssanyu eringi okuva mu bakkiriza abakuηaanidde ku Kkanisa ya ba Advent e Najjanankumbi.
Ssaabalabirizi Kajoba atuuziddwa gw’addidde mu bigere abadde Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya ba Advent Pr. Dr. Moses Maka Ndimukika.
Dr.Maka gyebuvuddeko yalondebwa okubeera omuteesiteesi omukulu.mu Kkanisa ya ba Advent atwala ettundutundu lya East and Central Africa.
Omusumba Maka nga yaakulembeddemu okubuulira akuutidde abasumba b’aba Advent n’enzikiriza endala ezisuuta Krisito okuteekateeka abantu abokubaddira mu bigere, kisobozese enjiri ya kristo okwongera okubuna nokubukaala mu nsi eno.
Pr. Maka era akalaatidde abakkiriza okubuulira abantu engiri nga kwotadde nookukola ebintu eby’enjawulo ebirungi mu bitundu byabwe,basikirize abantu okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo.
Ssaabalabirizi omuggya Omusumba Samuel Kajoba asabye government okuyisa obulungi abantu nti kubanga baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.
Okusinza kuno kwetabiddwako abantu okuva mu nzikiriza ez’enjawulo omuli abakatoliki, abalokole, naaba Orthodox.
Abakungu okuva e Mengo nga bakulembeddwamu Omumyuka owokubiri owa Katikkiro Owek. Wagwa Nsibirwa nga kwotadde n’abakungu okuva mu government bakulembeddwamu Amyuka omukubiriza wa parliament Thomas Tayebwa nabo tebalutumiddwa mwana.
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus












