Abayizi 213 bafunye PhD, nga gwe muwendo ogukyasiinze obunene mu byafaayo bya Makerere University.
Abayizi bonna omugatte 9,295 bebatikiddwa e Makerere University, ku matikkira ag’omulundi ogwa 76.
Abalenzi bebasiinze obungi nga baweza ebitundu 54% ate abawala 46%.
Amatikkira gano gamaze ennaku 4 nga gayindira ku Makerere University.
Abayizi 2,503 bafunye Masters degree, 206 post graduate diploma, abasoba mu 6,000 bebafunye degree esooka.
Amyuka ssenkulu wa ssetendekero wa Makerere, Prof Barnabus Nawangwe, agambye nti University yatadde nnyo essira ku by’okunoonyereza ekibayambye okutumbula ssettendekero wabwe n’okuvuganya mu katale kensi yonna.
Chancellor wa Makerere University Dr Crispus Walter Kiyonga, asabye amatendekero agawaggulu okwongera amaanyi mu by’okunoonyereza naddala ku bizibu ebikosa abantu baabulijjo mu bitundu byabwe gyebawangaalira.
Prof Moses Ruhweza, akulira ettendekero lya MUBs, asabye abayizi obutakozesa bukugu bwebafunye okubba ensimbi nokubulankanya ebintu ku mirimu gyebakolera.
Minister w’ebyenjigiriza era mukyala woomukulembeze w’eggwanga Janet Kataaha Museveni, asabye abazadde naabayizi abafuluma mu matendekero agenjawulo okuba neebiruubirirwa ssikumala gasoma.
Janet Kataaha Museveni yqyogeddeko ero abayizi ng’asinziirq mu maka gobwa president ngayita ku mutimbagano, yagambye nti abayizi okutikkirwa ssikyekikulu, nti wabula omuyizi kyazaako okukola oluvanyuma lw’emisomo kyekisiinga omulamwa.
Kataaha agambye nti omuyizi kikulu okuba n’ekiruubirirwa ekiyinza okumuwerekera okutuukiriza ebirootobye, nga nebwafuna ebimusoomooza asobola okubyaηηanga.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis












