Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibuuzo ebyakamalirizo mu ggwanga ekya UNEB, kifulumizza ebyava mu bigezo bya S.4 ebya 2025, ng’abayizi ebitundu 99.7% abaatula ebibuuzo bayitidde mu Result 1, era bakufuna certificate ya UCE, okukira ku bayizi ebitundu 98% ababituula omwaka 2024.
Guno gwemulundi ogwokubiri ng’abayizi ku mutendera guno bakola ebigezo by’akamalirizo mu nkola empya eya Competence Based Curriculum, (CBC).
Uneb eraze nti ku bayizi emitwalo 43 2,163 bebeewandiisa okutuula ebibuuzo bya S.4 okuva mu bifo 3,975, wabula ng’abasobola okubituula baali 429,949.
Abayizi 2,214 tebaakola bibuuzo ebyo wadde nga baali bewandiisa.
Abayizi emitwalo 428,628 bye bitundu 99.7%, bebaakoze obulungi ebibuuzo era abasobola okweyongerayo ku S.5 oba amatendekero agawaggulu.
Abayizi 1,321 balemereddwa okuyita ebibuuzo nga abamu balemereddwa okuweza obubonero n’abalala tebalina project work mu masomo agamu.
Okusinziira ku nnambika empya omuyizi afubye wakiri naafunayo *D* mu ssomo lyonna yaweebwa Certificate ya UCE asobola okugenda mu S.5, era ssonga omuyizi bwalemererwa okufuna wakiri *E* mu masomo gonna taweebwa Certificate ya UCE era abalibwa mu Result 3.
Omuyizi wayita amasomo gonna naye nga talina project work eyeetagisa, abalibwa mu Result 2, era taweebwa certificate ya UCE, nga mu mwaka guno abayizi abali mu muteeko guno bali 1,191.
Dan Odongo ssenkulu wa UNEB, bwabadde asoma alipoota yeebyavudde mu bibuuzo, agambye nti abayizi baayongedde okuyita obulungi essomo ly’eddiini erya CRE, Geography, n’oluzungu okukira ku mwaka 2024.
Amasomo okuli Ebyobulimi (Agriculture), Physics, Chemistry ne Biology gaakoleddwa bubi nnyo.
Abayizi mu masomo ga Arts bangi baafunye obubonero bw’omutendera gwa *C* n’okweyongerayo waggulu ku B ne A ekitalabikidde mu masomo ga science.
Odongo agambye nti abayizi mu masomo ga Science, abaweza obubonero obubaweeza ennukuta eya *D* beyongeddeko obungi mu mwaka guno bwogerageranya nomwaka ogwayita.
Kyokka kizuuliddwa nti abayizi bakyatawanyizibwa mu kutegeera obulungi ebibuuzo ebibaweebwa naddala mu masomo ga Science olwobutaba booji mu kulowooza nobuyiiya mu masomo ago.
Abayizi abawala bakize ku balenzi mu masomo g’oluzungu, naamasomo geebyeddiini, kyokka mu masomo okuli ebyafaayo nebyobufuzi (History and politicaleducation), Geography, Okubala (Mathematics), Physics, Chemistry, Biology neebyobulimi (Agriculture), abalenzi. baakize ku bawala.
Ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’ekitongole kya UNEB, Prof Celestino Obua, neyenyamira olwamasomero agamu agakyalemye okweteekateeka obulungi mu kujjumbira ennambika empya ey’okusomesa abayizi ku mutendera guno.
Bisakiddwa: Ddungu Davis













