Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo ebyakamalirizo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board, (UNEB), kizudde ebibuuzo bya PLE ey’abayizi b’essomero lya Bamure primary school mu district ye Koboko, ebitaagololwa.
Uneb bweyabadde efulunya ebyava mu bigezo byabayizi abaatula ebya P7 omwaka oguwedde 2025, yalaze nti abayizi ku ssomero lya Bamure Primary school, ekigezo kyabwe ekyolupapula lwa science, tekyakolebwa, era abagolozi tebakirabako.
Uneb era abayizi bessomero eryo bweyabadde abagereka bonna byalaze nti tebalina bubonero olwobutakola ssomo lya science.
Wabula oluvanyuma lw’abayizi okwemulugunya, kizuuliddwa nti UNEB yeyakola ensobi era oluvanyuma uneb, ekakasizza nti ebibuuzo by’abayizi abo yeyabyerabira mu bbokisi zaayo mwebyali biterekebwa, nga bwebaggyamu ebbaasa mwebiterekebwa ezimu neezeerabiramu.
Mu kuwandiika ekifulumiziddwa UNEB, ayogerera ekitongole ekyo Jennifer Kalule-Musamba, yetondedde abazadde, abayizi ne ssomero olw’ensobi eno eyakolebwa.
Agambye nti police eyitiddwa okusooka okwekebejja ebibaasa omusangiddwa ebibuuzo, nga mwebiri era nga tewali yali abisumuludde.
Musamba agambye nti UNEB eriko abasomesa beeyise bunnambiro, okujiyambako okugolola empapula zaabayizi bano, era bwezinamala okutereezebwa obubonero bwabwe bwakugattibwa kwobwo obwasooka okufulumizibwa.
Musamba agambye nti okusinziira ku kwekeneenya kwa UNEB, abayizi 34 ku ssomero lya Bamure Primary School bebaakosebwa, olwempapula zaabwe obutagololwa era nebataweebwa bubonero kyokka nti kino kigenda kutereezebwa bunnambiro.
Kalule Musamba era agambye nti okunonyereza kwebaakoze kwalaze nti mu kifo ebibuuzo gyebyali bikuumibwa, byasangiddwayo era nga tebikwatibwangako nga ne bookisi mwebyateerekebwa zikyaliko envumbo ezaali zaasibibwako.
Bisakiddwa: Ddungu Davis













