Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo ekya UNEB, kisabye ministry y’ebyenjigiriza ekkirize enteekateeka y’okugaba obubonero mu nkola eya distinction eggyibwewo mu bigezo bya PLE, nti kuba lyerimu ku kkubo erikyalemezaawo omuze gw’okubba ebibuuzo.
UNEB yasooka okuleeta ekiteeso kino mu mwaka gwa 2020 eri ministry yeebyenjigiriza wabula nekiyimirizibwa olw’okuba ebiseera ebyo abakwatibwako ensonga, baali tebasobola kutuula kukikubaganyako birowoozo, olwenkola ya tonsemberera eyaliwo eyaleetebwa ekirwadde kya Covid 19.
Dan Odongo ssenkulu wa UNEB, bweyabadde afulumya ebibuuzo, yategezezza nti obubbi bwebibuuzo obukyali waggulu, nga buva ku bakulembeze b’amasomero okwagala okufuna obubonero obubalibwa, nga n’olwekyo okukyusa n’okuggyawo obubonero kyekyokuyambako embeera eno.
Enkola yeemu egobererwa ku mutendera gw’ebibuuzo bya Secondary, gyebagala essibwe ne ku bya primary.
Odongo yategezezza nti amasomero mu district okuli Kampala, Kisoro, Kassanda neewalala bangi ebibuuzo byabwe bikyakwatiddwa olw’okuteeberezebwa okubbirira ebibuuzo.
Dan Odongo agambye nti wakyaliwo obunafu bwabakulembeze mu government ez’ebitundu obutateeka nsimbi zimala mu kwetegekera okulondoola ebibuuzo, ekiviirako abantu abamu okubisomolera mu bitundu gyebiterekebwa.
UNEB era ekyasoomozebwa olw’omuwendo gw’abayizi abeewandiisa ate nebatuula bibuuzo.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis













