Katokkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza kaweefube wa “Labuka – Tofiira ku kkubo” atereddwamu amaanyi kkampuni ya MTN, CBS FM, ne Centenary bank.m okusomesa abantu okwewala obubenje obumalawo obulamu bwa Bannauganda abawera.
Agitongolezza mu Kaliisoliiso Dinner 2025 ayindidde ku Hotel Africana mu Kampala.
MTN ewaddeyo obukadde bwa shs 520 okwongera okuwagira omulimu gw’okumaliriza ekifo awajjanjabirwa abafunye obubenje mu ddwaaliro e Nkozi n’okulwanyisa obubenje ku nguudo okuyita mu kaweefube ono.

Centenary bank ewaddeyo obukadde bwa shs 280,000.#












