Ekibiina kya FDC ekiwayi ky’e Katonga kimalirizza okubaga ssemateeka anaagobererwa mu kibiina kya Peoples singa akakiiko ke by’okulonda mu ggwanga kanakakasa ekibiina kyabwe.
FDC kumpi emaze omwezi mulamba nga babaga ssemateeka ,ono asuubirwa okwanjulwa mu kakiiko ke by’okulonda wiiki ejja.
Mu mbeera yeemu FDC etandise eddimu ly’omukusunsula emikono gyonna gyebagye mu banna Uganda, ng’emikono gino bagenda kujanjula mu kakiiko k’ebyokulonda ku lunaku lwebanaatwalayo ssemateeka wabwe.
Ssebawandiisi wa FDC e Katonga Harold Kaija agambye nti kati basigazza ekintu kimu kakiiko ka byakulonda kubatongoza ng’ekibiina ekiggya ekya PFF
Bisakiddwa: Lukenge Sharif













