Entanda ya Buganda ku 88.8 Ey’obujjajja eya nga 17 October,2024, abamegganyi Ssemiyingo Ibrahim eyafunye obugoba 26 ne Ssaalongo Tumusiime Gerald baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako, ate Lubwama Simon Peter eyafunye obugoba 9, yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Tuwe erinnya ery’ennono eriweebwa omukulu w’ekika ky’abeddira Nnakinsige. …..Omutaka Kyeyune.
2. Tuwe amannya g’akatabo Obunyuvu n’obukulu bw’olulimi Oluganda…… Lukwongwa Yoweeri.
3. Olugero: Omuwendo omutono binjanjaalo……… Olya oyolesa.
4. Lwaki akatiko akabaala bakageraageranya ku mufu. ……………..Kubanga tekaggyibwa omu era ng’omufu bwataziikwa omu.
5. Tuwe ebintu bibiri Buganda byeyafuna mu kuggya kw’Abazzungu…….. Amasomer n’amalwaliro.
6. Omuntu Abaganda gwebayita Enswenke yaatya? ………….Omwavu ennyo.
7. Tuwe amakulu g’ekisoko, Okusira ekiyobyo………….. Kumala biseera.
8. Omuntu eyazaalibwa mu 1932, kati aba alina emyaka emeka?…….. 92.
9. Tuwe erinnya ery’ennono eriweebwa omukulu w’ekika ky’abeddira Empindi. ………Omutaka Mazige.
10. Ani yawandiika akatabo, Ebisoko Biwooma? …………Bwewussa William.
11. Olugero: Sserulika………….. Terubula kyerukola.
12. Kwanaganya akatiko akabaala n’omwana omuwere………… Kaweebwa omwana omuwere okumwoza olubuto nga tannaba kuyonka.
13. Tuweeyo ebintu bibiri Buganda byeyafiirwa olw’okuggya kw’Omuzungu……….. Ebwotwaze n’ebyafaayo byayo mu bya tekinologiya.
14. Omuganda omuntu gwebayita Nnalukoola y’aba atya? ……………Ye muntu aseenga mu kitundu omutali bantu ku kyalo gyekisemba.
15. Okutema omuntu mu nvuba kisoko, kitegeeza ki?…………. Kuyamba muntu kuvvuunuka bizibu.
16. Omuntu eyazaalibwa mu 1936 leero alina emyaka emeka?………. 88.
17. Erinnya ery’ennono ery’omukulu w’ekika ky’abeddira Amazzi g’ekisasi? ………Wooyo.
18. Ani yawandiika ekitabo ekiyitibwa Mafuta Mingi? ……………EL Bbosa.
19. Olugero… Nnaagunywanga ne nsulayo. ………….Nga gyagunywedde gyakwanye.
20. Akatiko akabaala kakola katya ng’ekizza nganda?………….. Akatiko akabaala tekaggyibwa bwomu, oyita munno nemukaggya mwenna.
21. Ebintu bibiri ebiraga nti Abazungu baali tebannaggya kuno Abaganda baalina obugunjufu……..Abazadde bagunjulanga abaana baabwe ku byoto, era baawanga abakulembeze baabwe ekitiibwa.
22. Omuntu ayitibwa Munyaga-byanjo y’aba atya? ………..Ye muntu omunyumya ennyo.
23. Okuba mu g’omubulago kisoko, kitegeeza ki? ………Omuntu okuba mu bizibu eby’amaanyi ennyo.
24. Omuntu eyazaalibwa mu 1948, kati alina emyaka emeka? 76
25. Tubuulire etteeka ekkulu erifuga asogola embidde. ……..Akanya kugulu (okusogola ng’akaza)
26. Enviiri z’ebitoogo Omuganda yaziwa linnya ki? ……..Emyere.
27. Olugero: Enjogeziyogezi… Etuuka nnyinimu ku muze.
28. Ekisoko, Lutemya lwa liiso kitegeeza ki?……….. Mu bwangu ddala.
29. Ekikolwa eky’okusimbula eryato ly’okumazzi litambule kiweebwa linnya ki?…….. Okugolomola.
30. Omusajja eyayiiya akabonero ka Buganda ak’amafumu n’engabo. ………Samwiri Muwemba.
31. Lwaki kizira okusaaniisa olulagala lw’embidde? ……..Olw’amasanda amangi n’obutawunya bulungi.
32. Olugero: Ewaffe zirya ngugo………. Akuddiza maliba.
33. Enswa ezisooka okubuuka mu gw’enswa nga gutandika ziweebwa linnya ki? ………Enzigula matabo.
34. Ekisoko, Okubiikira ku lwazi kitegeeza ki? ……….Okutawaanira obwereere.
35. Akakwate akali wakati w’embwa n’omuliro gw’omukozi……. Embwa gwemugwa gw’omukozi gwakozesa ng’aleega olubugo.
36. Waliwo omuzaana alina akakwate n’ekyoto Ggombolola ku lubiri, yaani? ……..Nnannyonga.
37. Ekyalo okuli amasiro ga Kabaka Nnamugala………. Muyomba.
38. Kkoyi kkoyi, kiwuka ki kyebawa okutwala omuliro gwa Kabaka mu kibuga?……. Nsolosozi.
39. Mu ba Kabaka ba Buganda mulimu gwebaayitanga Ow’e Ssalaama. ……Kabaka Daudi Cchwa II
40. Olugero: Akatono akatuuse………. Kakira eddene essuubize.
41. Essubi bwerikaddiwa ennyo liweebwa linnya ki?…… Ekkukuuzi.
42. Omuntu agula ente asooka n’akebera ku jjembe, aba anoonya ki? ……..Aba akebera nzaalo zaayo.
43. Mu nju y’enkoko bassaamu obuti kwezisula, buweebwa linnya ki? ……….Empe.
44. Okusuula ensika kisoko, kitegeeza ki? ……….Okwenyweza.
45. Kabaka ayogerwako ng’eyasinga banne okwagala omuzannyo gw’amaato, yaani? …………Ssekabaka Mwanga Daniel Basammula.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.