Entanda ya Buganda eweerezebwa ku mpewo za 88.8 CBS.Fm ne ku Youtube Cbsfm official, ne www.cbsfm.ug ku y’obujajja, okuva monday okutuuka Friday. Ku ssaawa ssatu n’ekitundub ez’ekiro.
Mu Ntanda eyaweerezeddwa nga 15 October,2024
Abamegganyi abayiseemu ye Munnabuddu Miyiingo Charles Jjagwe eyeddira Olugave afunye obugoba 25, ne Munnabusiro Ssepuuya Moses eyeddira Ensenene afunye obugoba 22.
Munnakyaggwe Lubanga Hatibuh eyeddira Emamba awandukiddemu awo, akutte kyakusatu n`obugoba 17.
Bino bye bibuuzo ebyababuuziddwa:
1. Ameefuga ga Uganda og’omwaka guno 2024, gaabaddeko omugenyi owenjawulo, yavudde mu nsi ki? Central African Republic.
2. Amannya g’omuwandiisi w’ekitabo Wattu nga mbalabira…… Sister Prisca Nakitto.
3. Olugero: Bwolaba omukulu afungizza…Nga kaagoba kaliibwa.
4. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ekigaaga, Waliwo ekirime ekiringa ekijanjaalo, n’ekibego ky’ettooke jjajja kyakoleza abazzukulu.
5. Omanyira ku ki nti ku kiggya kwandibadde kuziikiddwako omuntu naye nga teyaziikwako?…….. Kusimbibwako ekiteete.
6. Omuntu ayogerwako nti akutuza n’endiga yabeera atya? ….Ye muntu omubi ennyo mu ndabika.
7. Kkoyi kkoyi, Kwata empiso nange nkwate empiso tutunge ekyalema omuzungu okutunga….. Olwatika lw’ettaka.
8. Amayembe tebagagula magule, bagakolaki? Bagaggya.
9. Ameefuga ga Uganda ag’omwaka guno gaabadde mu district ki? ….Busia.
10. Ani yawandiika akatabo Omulangira Nuuh Kyabasinga Mbogo? Hasfa Nakabiri ne Mustafa Mutyaba.
11. Olugero: Akuweera omwana…… Akira nakwagadde.
12. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ekyoto…. Ekifumbirwako emmere n’ekyeggaali.
13. Amalaalo ga Ssaalongo oba aga Nnaalongo ogaawula otya ku g’omuntu omulala nga yaakaziikibwawo? …..Kuteekebwako ebbombo.
14. Omuntu gweboogerako nti yalya essunsa aba afaanana atya? …….Aba mwogeza bboggo.
15. Kkoyi kkoyi, serengeta wammanga awo olabe obusajja obusibaganye enkalu…… Ekkobe ku kitooke.
16. Omulimu gumu gw’okka ogw’amayembe mu nsinza y’Abaganda ogw’ennono…… Ye mpewo ensirikale.
17. Amannya g’omugenyi ow’enjawulo ag’omugenyi eyazze ku meefuga ga Uganda….. Faustina Ouchani.
18. Ani yawandiika ekitabo Enkuluze y’ennono y’Omuganda? ….Dr. Martin Luther Kato Mugambwa.
19. Olugero: Kaamaanyi… Kaliibwa na mbiro.
20. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo akasolya. Obutaka bw’ekikka n’akennyumba.
21. Kalombolomboki akakulu ku kiggya ky’Omuganda okusinziira ku ndabika yaakyo….. Abaana abato tebaziikwa ku luuyi lwerumu n’abantu abakulu.
22. Omuntu ayogerwako mu kisoko nti ajjula emyungu n’emikonda yaaba atya? ………Ye muntu alina omukisa ogutatera kusangikasangika.
23. Kkoyi kkoyi, Ekitokolo tegwa mirambo……. Emigogo mu lusuku.
24. N’amayembe gawasa abakazi, tubuulire erinnya lya mukazi w’ejjembe Lubowa? …..Nnambaga.
25. Ku nkofu kubaako akantu akayitibwa Ttembere, ke kaliwa? …..Akabeera ku mutwe gw’enkofu.
26. Amaato g’okumazzi agamu bagaleegako engoye ezigatambuza, gafuna eriinya eddala, lyeririwa?….. Ettanga.
27. Olugero: Entamu bweyatikira omugoyo.. Tonenya mufumbi.
28. Ettooke eriswankudde lyeriba litya? Erissaako obunwe obutagezze (obusirikitu)
29. Ekisoko: Okuliisa ebijanjaalo empiso kiteegeezaaki ?……. Kusaagira mu nsonga eteetaaga kusaagiramu.
30. Kika kya Baganda ki ekirina obutaka e Katende mu Mawokota? …..Lugave.
31. Abasajja ba Buganda abeekalakaasa nga bakuza ebirevu nga Ssekabaka Muteesa awangangusiddwa baweebwa linnya ki?……. Kyayerambuga.
32. Tuweeyo erinnya kya Kabaka nga lirina akakwate ku kyewalula?……Musota.
33. Kiva ku ki omwana okuweebwa erinnya erya Nnalugooti? …….Aba muwala, muwanvu nnyo nga muto nnyo.
34. Olugero: Kameze mu luggya…Osima?
35. Ekika ky’omutuba ekyasooka okukomagibwamu olubugo…… Kaboga.
36. Ekisoko Obuka kirumira mpuyi bbiri kitegeeza ki?…. Okuba nga tosalawo.
37. Omuntu bwakugamba nti yasuze mu ngalabi otegeera ki? … Aba yasuze awagenda okwabizibwa olumbe.
38. Kika ki ekirina obutaka bwakyo e Kasaka mu Buddu? …..Nnamungoona.
39. Mu bika by’Abaganda mulimu ebika ebiyitibwa bi nnansangwa tuweeyo bibiri. ……Effumbe n’emmemba Kakoboza.
40. Ani yawandiika Ekitabo Ezinunula Omunaku?….. PMK Kawere.
41. Amakulu g’ekigambo okukanda……… Okukanda Capati n’okussa omuntu ku bukenkeke ng’olina kyomusaba.
42. Olugero: Engombo ekwata omwami …..ebuna kyalo.
43. Akajirita kansaze omulundi gumu be…… Cca.
44. Ekisoko okumalamu omusulo kitegeeza ki?
Okudduka okuva mu kifo mu ngeri y’okutoloka.
45. Okwonooneka kw’engege kuyitibwa kutya?…. Kududa.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K