Omulimu gw’okuddabiriza ekizimbe kya Uganda house mu Kenya,abavubuka abekalakaasi mu Kenya kyebaatekera omuliro gukyeesibye, government yakuno egambye nti ekyalinze ebinaava mu kunoonyereza okuva mu bitongole bya Kenya ku kituufu ekyaaliwo ekitebe kino okuteekerwa omuliro
Ekitebbe kino ekyaali kimaze okuddabirizibwa ku buwanana bwensimbi, nga kirindiridde okuggulibwawo, abavubuka abaali bekalakaasa mu Kenya baakiteekera omuliro, wamu ne kya parliament ya Kenya wabula byayanguwa okuzikizibwa nga tegunalanda kubisaanyaawo.
Minister Okello Oryem agambye nti okuddabiriza ekizimbe kino kyetaagisa ensimbi obuwumbi 6, wabula omutuufu alina okusasula ensimbi zino wakati wa Kampuni eyali ekiddaabiriza, government ya Uganda ,eya Kenya ne kampuni ya Yinsuwa , ajja kumanyibwa ng’okunonyereza kuweddde.
Minister Oryem agambye nti ekizimbe kino kyaggalibwaawo era tewali mulimu gwonna gukolebwako okutuusa ng’okunonyereza kuweddde.#