Ssekabaka Tonda Bemba Musota yeyasooka okuseenga e Naggalabi Buddo, yava Kiziba naasenga e Naggalabi.

E Naggalabi wewatikkirwa ba Kabaka ba Buganda okumala kati ebbanga erisoba mu myaka 700.

E Naggalabi Buddo era wano wewagambibwa okuba nti yenkulungo oba amakkatti g’Ensi Muwawa, Buganda nga bweyali eyitibwa ebiseera ebyo.

Ennyumba ya Bemba mweyasulanga yayitibwanga Buganda.
Ebyafaayo biraga, nti Kabaka Kato Kintu bweyalwana ne Bemba n’amutta, kwekukyusa erinnya ly’Obwakabaka obwayitibwanga Muwawa n’ebutandika okuyitibwa Buganda, era naye Kintu n’afuuka Kabaka wa Buganda omubereberye.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atudde ku Nnamulondo ya Bajajjaabe, nga Kabaka wa Buganda owa 36 alamula kati emyaka 31, era awo e Naggalabi Buddo weyatikkirwa nga 31 July,1993.#











