Nabbambula akutte naasaanyawo ekibanda ky’embaawo mu kibuga Masaka, ebintu bya bukadde nabukadde bwe nsimbi bitokomose.
Ekibanda kino ekibadde kiri okumpi ne Hotel Next kikuttr omuliro mu kiro, wabula police egezezaako okuguzikiza, naye ng’amazzi gebadde ereese nga tegamala.
Abantu ababadde ne business ez’enjawulo mu kibanda kino nga bakulembeddwamu ategeerekese nga Katashisha bagamba nti bandiba nga babookeredde bwokerezi, nti kubanga abakulira ekibuga eggulo limu baayisizza ekizindaalo nga mu kitundu, nga babalabula nti ekibanda ekyo kyabadde tekisaana kubeera mu kitundu ekyo okusinziira ku nteekateeka z’ekibuga Masaka.
Kigambibwa wabaddewo n’enkayana ku ttaka okutudde ekibanda kino, nga nazo zirina okwekennenyezebwa mu kunoonyereza ku muliro guno.
Omulundi gwakubiri ng’ekibanda kino kikwata omuliro, ogwasooka gwaliwo mu 2021.
Omwogezi wa police e Masaka Twaha Kasirye agambye nti tebalina kyebazudde ku kiyinza okuba nga kyekivuddeko omuliro.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja