Ekibiina ekiri mu buyinza bwa Uganda ekya NRM kitandise okuzza obugya enkalala z’abawagizi be kibiina kino okwetoloola ggwanga lyonna.
Enteekateeka eno egendereddwamu abalulembeze bakyo okumanya omuwendo gw’abawagizi nga bewandiisa mu bitabo ebitongole eby’ekibiina ebya Yellow book.
Yatongozebwa ssentebe w’ekibiina era omukulembeze w’eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni nga 28 February,2024.
Okuzza obuggya enkalala z’abawagizi kwakumala ennaku 5,okuva nga 13 March okutuuka nga 17 March,2024.
Amyuka omukulembeze w’ekibiina kya NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi agambye abawagizi bonna abagenda okuwandiisibwa balina okubeera n’ebiboogerako, oluvannyuma ekibiina kyakubawa kaadi eziraga obwa memba mu NRM.
Alabudde abaweereddwa obuvunaanyizibwa bw’okuwandiisa banna kibiina kya NRM nti tebageza nebawandiisiza abantu mu maka gabwe, nti kubanga kyandireetawo obutakwatagana mu kibiina wabula abantu babawandisize mulujudde ng’ensi ebalaba.
Mungeri yemu Kiwanda suubi alabudde banna kibiina nti tebageza nebaleeta entalo zabwe ku byalo muntekateeka eno, nti wabula bogerezeganye bulungi okulaba ng’ekibiina kisigala kiri wamu
Bisakiddwa: Lukenge Sharif