• Latest
  • Trending
  • All
Omulamuzi Julia Ssebutinde alondeddwa ng’omumyuka wa president wa kooti y’ensi yonna – ekisanja kya myaka 3

Omulamuzi Julia Ssebutinde alondeddwa ng’omumyuka wa president wa kooti y’ensi yonna – ekisanja kya myaka 3

February 6, 2024
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi

May 21, 2025
Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

May 20, 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

May 20, 2025
Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

May 20, 2025
Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

May 20, 2025
Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

May 20, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge

May 20, 2025
Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

May 20, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye

May 19, 2025
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Omulamuzi Julia Ssebutinde alondeddwa ng’omumyuka wa president wa kooti y’ensi yonna – ekisanja kya myaka 3

by Namubiru Juliet
February 6, 2024
in Amawulire, World News
0 0
0
Omulamuzi Julia Ssebutinde alondeddwa ng’omumyuka wa president wa kooti y’ensi yonna – ekisanja kya myaka 3
0
SHARES
207
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Omulamuzi Julia Ssebutinde munnauganda atuula mu kkooti y’ensi yonna etaawulula entalo n’obutakaanya wakati w’amawanga eya International  court of Justices, alondeddwa  okubeera omumyuka wa president wa kkooti eno.

Ekifo kino wakukiweererezaamu okumala ebbanga lya myaka 3.

Omulamuzi Julia Ssebutinde, yegatta ku kkooti eno ng’omulamuzi waayo okuva nga 06 February, 2012, era kati yakamalayo emyaka  12 ng’aweereza mu kkooti eno etuula mu kibuga Heague ekya Netherlands.

Omulamuzi Julia Ssebutinde ye ssenkulu wa University ya Kabaka eya Muteesa I Royal University.

Yaweerezaako mu ggwanga lya Sierra Leone wakati w’omwaka 2005 ne 2011 ng’omulamuzi mu kkooti eyenjawulo ,gyeyava okwegatta ku kkooti eno eya international court of justices.

Omulamuzi Julia Ssebutinde yemukyala yekka eyasooka ku Ssemazinga Africa, okuweereza ng’omulamuzi  mu kkooti eno eya international court of justices.

Ssebutinde webamulondedde ku kifo ky’obumyuka nga kyaggye awe ensala eyawukana n’abalamuzi ba kooti eno abalala 15, ekwata ku lutalo oluli e Gaza wakati wa Israel ne Palastine, mu musango ogwatwalibwayo South Africa.

South Africa yasaba kooti eno eragire Israel okukomya okutirimbula abantu be Gaza, ng’erumiriza ebikolwa bya Israel mu lutalo luno byali mu ekitta bantu ekigenderera okusanyaawo aba palastine.

Mu nsala y’omulamuzi Ssebutinde yategeeza nti olutalo lwe Gaza olwali lumaze ebyeya n’ebisiibo, lwali lwetaaga abakulembeze b’ebyobufuzi abalukumamu omuliro okwekuba mu kifuba balukomye, nti n’olwekyo  lwali terusobola kuzikizibwa na nsala za kooti eyo eya International court of justices.

Ensala eyo yasiikuula emeeme z’abantu okwetoloola ensi yonna nebavumirira omulamuzi Ssebutinde, nti wakiri yandivumiridde ekya Israel okukuba ebikompola ku Gaza ebisse abantu ba ssaalumanya ne bannalumanya nalema nsonga za lutalo kuzirekera bannabyabufuzi okusalawo ekiddako

Ba memba ba Kooti eno International court of justice balonze omulamuzi Nawaf Salim munnansi wa Lebanon nga president omuggya owa kkooti eno, okudda mu bigere by’Omulamuzi  Joan Donoghue munnansi wa  America abaddeko.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi
  • Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo
  • Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima
  • Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga
  • Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -