• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda : Wakka awunya –  nga ggwe omulumbye mu nje ye

Eno ye Ntanda : Wakka awunya – nga ggwe omulumbye mu nje ye

December 12, 2023

Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

May 19, 2025

Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye

May 19, 2025
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

May 19, 2025
Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

May 19, 2025
Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

May 19, 2025
Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

May 18, 2025
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda : Wakka awunya – nga ggwe omulumbye mu nje ye

by Namubiru Juliet
December 12, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda : Wakka awunya –  nga ggwe omulumbye mu nje ye
0
SHARES
198
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Mu lumeggana Kinyoolankoto mu program Entanda ku 88.8, nga 11.12.2023, Abamegganyi; Kayemba Walgembe eyafunye obugoba 23 n’omukyala Nnasiwa Pross eyafunye obugoba 19 baayiseewo okwesogga olumeggana oluddako ate Kizito Innocent eyafunye obugoba 13 yawanduse.

Biibino ebibuuzo by’entanda;
1. Ani ssenkulu wa Buganda Royal Institute oluvannyuma lw’okuwummula kwa Dr. Anthony Wamala? – Owek. Joseph Ssenkusu Balikuddembe.

2. Okukomba mu kibatu kitegeeza ki? – Kukuba nduulu

3. Amakulu g’ekigambo evvu ga mirundi ebiri –  Evvu ly’omukyoto n’evvu eribeera wansi w’olulagala

4. Omubala gw’ekibiina ky’olulimi Olugaganda gugamba gutya? –  Olulimi ly’eggwanga

5. Atta ekizige asooba, lutegeeza ki? – Tetusaana kupapa nga tulina kyetukola

6. Ani yawandiika ekitabo Ebitontome By’oluganda n’ensomesa yaabyo?  – MB Mulumba

7. Embuzi oluusi erina kyekola, omulunzi n’akitaputa nti ekungula, kikolwa ki ekyo? – Okulanga ensingo

8. Omukazi lw’agula ettooke ng’akalombolombo ka Abaganda – Akuulakuula obuddo awo wennyini waaba ayunze ettoke

9. Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II yeyasooka okubeera Ssenkulu wa Muteesa I Royal Unvirsety ani mumyuka wa ssenkulu? – Prof Vincent Kakembo

10. Ekisoko, Ndirimugoye kitegeeza ki? – Okubeera omulwadde ennyo nga tova ku ndiri

11. Mu bintu omuganda byeyeeyambisa mu maka ebitalina bulamu, waliwo ebirina amaaso, tuweeyo bibiri. – Entamu n’eggaali

12. Omukolo gw’ekibiina ky’Olulimi oluganda ogwabadde wano ku Sunday gwabadde mu kifo ki? –  Buganda Tourism Centre

13. Olugero, Wakka awunya nga ggwe omulumbye mu nje ye, kitegezza ki? –  Ebizibu ebisinga ffe tubyereetera

14. Ani yawandiika ekitabo Ekinywa ky’amaggwa? –  Kibuuka Chuka

15. Mu buwangwa bw’Abaganda nga bwekuusa ku kufumbirwa mu limu embuzi, omukolo ogwekuusa ku mbuzi guyitibwa gutya? –  Okuwuusa omugole

16. Ennyunja y’ekitooke kya Gonja eyawukana etya n’ennyunja y’ekitooke ky’emmere eyabulijjo – Gonja omugogo tegukutulwa ate eky’ettooke omugogo gukutulwa

17. Owek. Coltilda Nakate Kikomeko ye minisita wa Buganda ow’ebyenjigiriza, bweyali tannafuuka minisita yali mukulu wa ssomero, yasembyayo ssomero ki okukulembera? –  Trinity College Nabbingo

18. Okunaaba amaaso ku musulo kitegeeza ki? –  Okukeera ennyo

19. Amakulu g’ekigambo ngoye –  Ze twambala n’emiko gyamalagala agagenda okubyalibwa

20. Omukolo gw’ekibiina ky’Olulimi Oluganda ogwabaddewo wiiki ewedde gwatuumwa linnya ki? –  Olujjuliro

21. Mmandwa mbi evumaganya agisamirira, lutegeeza ki? – Tusaana okulongoosa emirimu gyaffe abalala bagyettanire

22. Ani yawandiika ekitabo Obuwanga N’ennono Ebyabaganda? Elusaamu Kituuka ne Katamba Mutyaba.

23. Embuzi ennume ezimu ziyimiriza ebyoyo ku mugongo n’obusungu, ebyoya ebyo biweebwa linnya ki? – Oluginirizi

24. Muzizo ki omukulu oguli ku mugogo okuli etooke eriyunjiddwa? –  Endagala zaakwo tezikozesebwa kusaaniika mmere era n’ebyayi byakwo

25. Omulimu gw’obutuuza bwa Kabaka gwatandika ddi? –  Ku mulembe gwa Kabaka Mulondo

26. Ekiwempe kyebaluka mu byayi kiyitibwa ekirago, kiweebwa linnya ki eddala? – Akaayi

27. Ekiryokya embi kyekiryokya n’ennungi, kiki kyababa boogerako? –  Ekitawuliro

28. Kabaka wa Buganda omu alina amasiro ge mu Kyaddondo. – Kabaka Muteesa I

29. Ensiisira z’omulumbe, abajjwa tebazizimbulula, bazikola ki? –  Bazaabya bwabya

30. Omukulu w’abaweereza bonna ab’omu;lubiri aweebwa linnya ki ery’ennono? –  Ssaabakaaki

31. Omuntu asosonkereza munne ng’ayagala anyiige era balwane, aba amukolaki? –  Okusokaasoka

32. Olugero: Kaddulubaale tanfuga – Nga simugolewe

33. Ekiwu kya Kabaka ekijjudde obulungi kibeerako amaliba ga ngeri nnya, tuweeyo ssatu – Engo, Empologoma n’ente

34. Essaza lya Mumyuka wa Buganda –  Teririiyo kubanga Kabaka tamyukibwa mu masaza

35. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Kusobya –  Omukyala ng’aluka omukeeka asobola okugusobya n’omwami okusobya omwana we ng’akoze obwezi

36. Tetugamba nti Omumbejja ali lubuto, tugamba tutya? –  Nti azitoye

37. Akaddo akayitibwa akava magombe akalina erinnya eddala ekikaweebwa linnya ki? –  Akava wala

38. Enju gyebageraageranya ku Yamugogo e Ssenyi eba efaanana etya? –  Eba nnene ng’eriko emiryango mingi

39. Omuganda waliwo abantu baayita Ensongoza-mumwa, tuweepyo ba mirundi ebiri.-  Omusajja omuwuulu n’omukazi omukambwe ennyo

40. Mu bivuga by’Omuganda eby’ekinnansi mulimu kyebayita endongo, kyekitya? – Entongooli

41. Waliwo enva abaganda zebawanuuza nti zezikwasa nnawolovu mu maaso, ze ziriwa? –  Ntula

42. Olugero: Nnasuze lungaaya –  Asekerera wangenda nalwo

43. Olwendo lwebayita olwisi lweruba lutya? –  Lweruba n’omukonda ogwewetamu

44. Ekisoko. Okusala mu z’e Kibuye  -Okukola eky’omuzizo

45. Ekigambo Okutetevvula eri mu lulimi oludda mu kulya kitegeeza ki? – Okulya ebyassava naye ng’omuntu oyo aliko byeyeekulisa.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo
  • Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye
  • PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government
  • Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF
  • Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -