• Latest
  • Trending
  • All
Katikkiro Mayiga asabye government ya wakati okusaawo omutemwa gwénsimbi ezirabirira amasiro gé Kasubi nókugafuula akabonero ka Kampala

Embalirira ya Buganda 2023/2024 ya buwumbi 209

September 25, 2023
Munnauganda Jacob Kiplimo ataddewo likodi empya mu mpaka z’emisinde bw’awangudde Lisbon half Marathon 2026

Munnauganda Jacob Kiplimo ataddewo likodi empya mu mpaka z’emisinde bw’awangudde Lisbon half Marathon 2026

March 9, 2026
President Museveni awabudde abakyala okukwasizaako abaana abawala okusoma – abakyala 34 baweereddwa emidaali egibasiima ku lunaku lw’abakyala 2026

President Museveni awabudde abakyala okukwasizaako abaana abawala okusoma – abakyala 34 baweereddwa emidaali egibasiima ku lunaku lw’abakyala 2026

March 8, 2026
Women’s day 2026 – Give to gain

Women’s day 2026 – Give to gain

March 8, 2026

Buli district ya Uganda yakussibwamu kooti enkulu okukendeeza ku misango egyetuuma mu kooti – Minister Nobert Mao

March 6, 2026

MTN Momo edduukiridde abakyala ba KCCA abasiibi ebawadde ettu lya Iddi – Lord Mayor Lukwago yennyamidde olw’omusaala omutono oguweebwa abayonja ekibuga

March 6, 2026

Donald Trump azzeemu okulabula Iran nti bwetawanika – eyolekedde okufuuka amatoongo

March 6, 2026
Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna

Abakyala ab’enzikiriza ezenjawulo bakuηaanidde e Namungoona mu kusaba okwenjawulo okw’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna

March 6, 2026
President Museveni awabudde ku mbeera y’okusesebbula Iran nti yandireetera ensi ebizibu bingi – abadde asiibulula basiraamu

President Museveni awabudde ku mbeera y’okusesebbula Iran nti yandireetera ensi ebizibu bingi – abadde asiibulula basiraamu

March 5, 2026
Maj. General Apollo Kasiita Goowa ne Brig. General Johnson Namanya ababadde bakulira ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga – bawaddeyo office ezo mu butongole

Maj. General Apollo Kasiita Goowa ne Brig. General Johnson Namanya ababadde bakulira ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga – bawaddeyo office ezo mu butongole

March 5, 2026
Government etandise enteekateeka z’okulayiza president Museveni ku kisanja ekya 2026-2031

Government etandise enteekateeka z’okulayiza president Museveni ku kisanja ekya 2026-2031

March 5, 2026
Government ekyusizza ebitundu ewagenda okuyita oluguudo lwa Busega-Mpigi Express – ensimbi ez’okuliyirira bannyini bizimbe tezirina

Government ekyusizza ebitundu ewagenda okuyita oluguudo lwa Busega-Mpigi Express – ensimbi ez’okuliyirira bannyini bizimbe tezirina

March 4, 2026
Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusiima olw’emirimu egikoleddwa omugenzi P.K Ssengendo – abadde muwulize

Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusiima olw’emirimu egikoleddwa omugenzi P.K Ssengendo – abadde muwulize

March 4, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Embalirira ya Buganda 2023/2024 ya buwumbi 209

by Namubiru Juliet
September 25, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Katikkiro Mayiga asabye government ya wakati okusaawo omutemwa gwénsimbi ezirabirira amasiro gé Kasubi nókugafuula akabonero ka Kampala
0
SHARES
212
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Obwakabaka bwa Buganda buyisizza embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 ya buwumbi bwa shilling 209.410,622,250,  egenda okutambulizibwako enteekateeka z’enkulaakulana y’abantu ba Kabaka, ku mulamwa ogugamba nti Teri Kubongoota ( leaving no one behind).
Embalirira eno yesoose mu kuteekesa mu nkola Nnamutaayiika wóbwakabaka owómwaka 2013 -2028, owókuleetawo enkyukakyuka mu byénfuna.
Mu ngeri yeemu embalirira eno egenderera okuteekesa mu nkola, enteekateeka empya (new model for the new normal) eyókweyambisa obuwangwa nénnono okutumbula ebyenfuna nénkulakulana yábantu.
Omwaka gw’eby’ensimbi 2022/2023 embalirira ya buwumbi 154,849,026,314/= yeeyayisibwa, wabula wegwagwerako nga Obuwumbi 174,414989243/= zezaafunibwa, ekivudde ku nnyingiza yénsimbi eyeyongeddeko okulinnya nébitundu 10.5%.
Owek.Robert Waggwa Nsibirwa ng’asoma embalirira y’Obwakabaka bwa Buganda 2023/2024
Embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 esuubirwa okuvujjirirwa ensimbi ezinaava mu Ttaka ly’obwakabaka, Ebibiina by’obwegassi, Enkuluze ,Ebitongole by’obwakabaka, ensimbi ezibaanjibwa government n’ebintu ebirala.
Ezimu ku nsonga ezigenda okusinga okusoosoowazibwa kuliko kulambula abali mu Bwegassi, Okwagazisa abantu mu Buganda okubaako byebakola omuva ensimbi , omuli Obulimi n’Obulunzi, Okutandikawo program “Tobongootera ku ttaka mu kitongole k’Ebyobulimi mu Bwakabaka ki BUCADEF, Okulwanyisa Mukenenya, Okusima enzizi n’ensonga endala nyingi.
Obwakabaka bulina enteekateeka y’Okugula Tractor ezigenda okukozesebwa abalimi mu buli  Ssaza, okwongera ku bungi bwebirime n’Omutindo gwabyo, okuvuganya obulungi ku katale k’ensi yonna, saako okukubiria abantu okusigala mu byalo balime.
Obwakabaka bulina enteekateeka ey’okugula ekyuma ekikebera omutindo gw’Ettaka, kiyambeko abalimi obutamala galimira ku ttaka nga tebamanyi oba byebalimako bivaamu ebibala ebyegasa, nga bino bigenda kussibwa mu kibangirizi ky’Amakolero ekya Buganda ki Buganda Industrial Park.
Mungeri yeemu Obwakabaka bulina enteekateeka y’okuzimba Ekyuma ekisunsula Emwanyi ,okwanguya n’okwekeneenya omutindo gwezo ezitundibwa ku katale ka  Uganda nénsi yonna.
Kino kyesigamiziddwa ku kukulinnya kwóbungi bwémmwanyi ezirimibwa mu Buganda ezirinnye nébitundu 40%.
Owek.Robert Waggwa Nsibirwa omuwanika wa Buganda
 Omumyuka owokubiri owa Katikkiro  wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa era nga ye muwanika w’Obwakabaka,agambye nti Obwakabaka bwakufuba okusaawo ebintu ebitwala Buganda ku ntikko, nga buwagira abantu baabwo nga bulambikibwa Ssaabasajja Kabaka.
Owek.Nsibirwa agambye nti Obwakabaka buwagidde emirimu gy’Abataka abakulu ab’obusolya: okulabirira ekkakakalabizo lyabwe, okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna obukwata ku ntambula yabwe, n’okukung’aanya ensimbi eziva mu bbaluwa ezitwalibwa ku mikolo gy’okwanjula.
Akaalo amatendo
Mulimu n’okunnyikiza akaalo amatendo, akalimu amaka amalungi, wamu n’okusimba emiti okuggumiza ebibira bya Ssaabasajja Kabaka.
Obukugu

Mu kaweefube w’okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza, buteeseteese okutandikawo enkola ey’okulondoola abavubuka abasomye nebakuguka “labour market Information System” okuyambako okumanya obukugu bw’abaasoma naye nga tebalina mirimu, olwo abeetaaga abakozi babettanire.

Oluwalo
Oluwalo lwavaamu ensimbi ezisoba mu kawumbi ka shs akalamba, ezimu nezizzibwayo okukulakulanya amagombolola, okusima enzizi, Okukola emirimu gy’embuga, okukwasizaako enkola ya mmwanyi terimba n’ebirala.
Ebirala ebituukiddwako:
-Okunywezxa enkola ya bannamikago (okuva ku nkola ey’obuvujjirizi okudda ku nkola ya bannamikagoi
-Government eya wakati okusasula ku nsimbi ezijibanjibwa(ku buwumbi 500 obujibanjiba yasobodde okusasulako obuwumbi 5
-Okukula kwa kampuni n’ebitongole by’obwakabaka mu by’obusuubuzi n’obuweereza
-Ebitongole by’obwakabaka okwongera amaanyi mu kubunyisa olulimi oluganda mu nsi yonna (Entanda ya Buganda ku CBS)
-Okwogerera omupiira gwa world cup ogwa 2022 mu luganda ku DStv
-Okugulira amagombolola pikipiki 71 okwanguyaako okutuusa obubaka ku bantu ba kabaka mu byalo obukwata kukulwanyisa mukenenya.
-Kampuni ya mmwanyi terimba Ltd eyongedde okusuubula, okusunsula n’okutunda emmwanyi ebweru wa Uganda   (yakasuubula tani eziwera 200).
Mu lutuula lw’olukiiko olwokusatu olw’omulundi ogwa 31, Olukiiko luyisizza ekiteeso ekisiima Katikkiro Charles Peter Mayiga okwetaba mu lukumgaana lwa UNESCO olwatudde mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia, olwayisizza ekiteeso ekiggya amasiro g’e Kasubi ku lukalalala lw’ebifo eby’enkizo oluli mu katyabaga.
Katikkiro Charles Peter Mayiga
Katikkiro asabye government eya wakati okusaawo omutemwa gw’ensimbi mu mbalirira y’eggwanga ezinaayambako okulabirira amasiro.
Katikkiro era ajjukiza KCCA okuyisa ekiteeso ekifuula amasiro akabonero ka Kampala, okutumbula eby’obulambuzi.
Mbuubi Michael Mboowa omwami wa Kabaka ow’essaza Buvuma
Mu lutuula lwe lumu  luno olukubiriziddwa omumyuka wa sipiika Owek.Ahmed Lwasa, asoose kukubisa birayiro omwami w’essaza Buvuma Mbuubi Owek. Michael Mboowa ebimukkirizza okuteesa mu lukiiko lwa Buganda era n’afuuka memba omujjuvu#
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Munnauganda Jacob Kiplimo ataddewo likodi empya mu mpaka z’emisinde bw’awangudde Lisbon half Marathon 2026
  • President Museveni awabudde abakyala okukwasizaako abaana abawala okusoma – abakyala 34 baweereddwa emidaali egibasiima ku lunaku lw’abakyala 2026
  • Women’s day 2026 – Give to gain
  • Buli district ya Uganda yakussibwamu kooti enkulu okukendeeza ku misango egyetuuma mu kooti – Minister Nobert Mao
  • MTN Momo edduukiridde abakyala ba KCCA abasiibi ebawadde ettu lya Iddi – Lord Mayor Lukwago yennyamidde olw’omusaala omutono oguweebwa abayonja ekibuga

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist