Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Ttabamiruka w’abasajja mu Buganda asookedde ddala, omukolo guyindira mu luggya lwa Bulange e Mmengo.
Ttabamiruka w’abasajja 2024, atambulira ku mulamwa ogugamba nti “Obuvunaanyizibwa bw’abasajja n’abalenzi mu nkulaakulana ya Buganda ”
Kamalabyonna agambye nti Okutuukiriza obuvunaanyizibwa y’ensulo y’ekitiibwa ky’omusajja bwatyo n’asaba abasajja n’abavubuka okusooka okutegeera obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe olwo n’ekitiibwa kigoberere.
Avumiridde abasajja abeesuulirayo ogwa nnaggamba mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe songa ate baagala ekitiibwa!
Katikkiro awabudde abasajja okubeera eky’okulabirako ekirungi eri abaana baabwe abalenzi kibayambe nabo okukula nga bamanyi byebateekeddwa okukola ng’abasajja ab’obuvunaanyizibwa.
Agambye nti abasajja basaana okusoosowaza ensonga y’okufaayo ku bulamu bwabwe, kubanga bbo gw’emutwe gw’amaka ogwetaaga okuba omulamu obudde bwonna.
Mukuumaddamula agambye nti ng’ebyo bigobereddwa bulungi n’enkulaakulana ya Buganda teyinza kugaana kutuukibwako.
Minisita w’ekikula ky’abantu mu Buganda era abaategese Ttabamiruka ono Owek Hajjati Marriam Mayanja Nkalubo agambye nti Ttabamiruka ono baasoose kumutegekera bakulembeze okuli abaami ba Kabaka ab’amasaza, eggombolola n’abalala abatuuka obutereevu ku bantu ba Kabaka babatuuseeko obubaka buno.
Ttabamiruka yeetabyeko Vicar General w’aba Ssoddookisi Rev.Fr.John Kibuuka Bbosa , Ssaabaganzi Ssaalongo Emmanuel Ssekitooleko, Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule,Minisita Israel Kazibwe Kitooke , abaami bamasaza n’abamyuka babwe nabasajja abalala bangi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K