Mu Program Entanda ya Buganda Nnantaggwa buwoomi eya nga 28 October,2024 ku 88.8 Ey’obujjajja, abamegganyi Nsubuga Hassan eyafunye obugoba 24 ne Bbanja Steven eyafunye 21 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako, ate Ssennyange Rogers eyafunye obugoba 77, yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Ekika ky’abaganda ekirina obutaka e Kyasa…….. Kinyomo.
2. Omuntu Abaganda gwebayita Kasajja-ffuba aba afaana ataya? …….Ye muntu ayagala ennyo okulaga abalala nti ekintu akisobola ate nga takisobola.
3. Olugero: Ndifiira mu ba nganda zange….…Nga n’akamwa kalungi.
4. Erinnya lya Kabaka ayakisa omukono oluvannyuma lw’ekisasiro okumugwa ku liiso? ….. Kiyimba.
5. Tereeza Ssentesi, Ffe abakuyita…….. Ffe tukuyita.
6. Omuziro gw’Abaganda ogulina akakwate ku nju ensereke. ……Mazzi g’esasi.
7. Amannya g’omukungu akola ku Protocol mu bwakabaka bwa Buganda…….. Omuk. David Ntege.
8. Ekinyonyi kya langi ya kikuusikuusi, abaganda bawanuuza nti kifiisa nnyo abaana, kinyonyi ki? …….Mpaabaana.
9. Kika ki ekirina obutaka bwakyo e Mukungwe mu Buddu? …….Ndiisa.
10. Waliwo omuntu Abaganda gwebaapaatiikako erya Makaabugo, y’aba atya?……. Omuntu awambaganya eby’okukola.
11. Olugero: Eyannyinimu……… teyasa ntamu.
12. Kabaka ayakubwa laddu n’atafa……… Kabaka Ssuuna II
13. Ye nze akuyita, kitereeze. …….Nze nkuyita.
14. Enjawulo mu nju zino; Omusekese n’ekifulukwa. ……..Omusekese ye nju etannaserekwa ate ekifulukwa y’ennyumba eyavaamu abantu ng’eri awo.
15. Amannya ga Ssenkulu wa CBS Radio. Omuk. Michael Kawooya Mwebe.
16. Ebinyonyi ebireekaana ennyo nga bizimba n’ebisu ku miti, biba bya kyenvu, biyitibwa bitya? ……Ndegeya.
17. E Bwanja mu ssingo waliyo embuga y’ekimu ku bika by’Abaganda, kika ki?……. Nkerebwe.
18. Omuntu gwebayita Byangota, yaaba atya?…..Omwana omuto atannayiga kwogera.
19. Olugero: Ayagala obukulu… Takyala.
20. Erinnya lya Kabaka ayasembayo okuggyibwa akaba. ……Ssuuna II
21. Ye nze agamba.. Tereeza…….. Nze ngamba.
22. Ku nju y’Omuganda kuliko ekintu kyebayita Ebisegguusi, kyekiriwa?…… Ekitundu ekibeera oluggi gyeludda nga bagguddewo.
23. Ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation. …..Omuk. Edward Kaggwa Ndagala.
24. Ekinyonyi ekizimba ennyumba yaakyo ku muti nga kyeyambisa ebbumba, Omuganda yakiwa linnya ki? …….Nnaddibanga.
25. Okutega Enkangantira kisoko, kitegeeza ki?…..Okuteganira obwereere.
26. Abalimi b’ebitooke by’embidde tebabiggyako nsukusa, kiba kya muzizo, bwokikola kiba ki? …….Obwami bwo bwewandibadde olya baba bagenda kubukuggyako..
27. Omutima gwantyemuse omulundi gumu be,…….. twa.
28. Mu nteekateeka y’obukulembeze bw’ebika bwova ku mutuba ng’odda waggulu odda ku mutendera ki? ……Ssiga.
29. Olugero: Ndifiira waggale…… Bamuyisa ku kifulukwa.
30. Abalubaale balina emizizo, muzizo ki omukulu ogugatta abalubaale bonna?….. Bwenzi tebukkirizibwa
31. Sseddagala ow’e Ngeye yali mubumbi nnyo ow’ensuwa n’entamu, omulimu ogwo yaguyigira wa? …..Bunyoro.
32. Olugero: Empisi eyamaddu… Efa kiteteme.
33. Ensawo eweebwa omusika eweebwa linnya ki? ……..Enfulebe.
34. Enkerembe zange nno zonna nazizzaayo mu kyalo, enkerembe kye ki? ……Baana.
35. Ne balubaale basingana mu myaka, Lubaale ki asinga banne obukadde?….. Muwanga.
36. Ejjinja lyebayita Ssali lisangibwa mu ssaza Mawokota, mu kitundu ki? …….Bunjakko.
37. Ekisoko, Okukama ennume kitegeeza ki?…. Kubonyaabonya muntu.
38. Ekita Omuganda kyayita Olutagaggyo, kiba kifaana kitya? …….Ekyomumwa omugazi.
39. Ekikolwa eky’okusala endagala enkulu zonna n’essanja nga weeyambisa ekiwabyo, Omuganda yakiwa linnya ki? …….Kukubirira.
40. Olugero: Ndwadde ekula kiro… Y’aziika omuliro..
41. Omutaka akulira ekika ky’Enkerebwe…… Omutaka Kidimbo.
42. Ekisoko, Okusuulayo Akayinja kitegeeza ki?……. Kuyita wantu w’omanyi naye n’otayagala kulaba banno booli nabo nti omanyiiwo.
43. Ekibbo Omuganda ky’ayita olubbobbo…….. Ekyavaamu entobo.
44. Engabo eyitibwa eyensinga yeeba etya? Yeerukiddwako n’ebibo.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K