Omujulizi Omutuukirivu Mukasa Kiriwawanvu.
Ye muwolereza w’abakola mu Wooteeri, Ebbaala n’ebirabo by’emmere.
Mukasa Kiriwawanvu, yayokebwa bwokebwa nga 3 June ne banne abalala.
Kiriwawanvu asibuka Mbaale Mawokota okumpi n’obutaka bw’abeddira Endiga.
Yali azaalibwa omusajja Lumanyika Kirwamukyayi ne nnyina Omusoga Malookuvaawo.
Kiriwawanvu kitaawe yamusiiga mu Lubiri abe omu ku bambowa ba Kabaka Muteesa.
Yali musajja mugoogofu era embaggubaggu yennyini, yalina amaanyi agataalina alina era omukozi nnakinku.
Yali musajja mubereezi nnyo era omusaaze ataatanga kusanyusa n’okusesa banne.
Mu Lubiri yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okugabulanga abagenyi ba Kabaka wamu ne banne abambowa.
Baakukutanga ne Mukasa Balikuddembe nebasomesebwa eddiini, wabula olunaku lumu, Kiriwawanvu yafuna obutakkaanya ne munne Gyaviira nebalwana, kale olw’okuba yali musajja wa kiwago, yakuba bubi nnyo Gyaviira era n’aggalirwa mu kkomera.
Weyasibirwa mu kkomera, yali tannabatizibwa era teyabatizibwa nga banne abalala n’amazzi, yabatizibwa na musaayi ku lunaku lwennyini lweyattibwa.
Kabaka Mwanga yamubuuza oba nga ddala naye yali omu ku basomi, n’addamu mu buvumu obw’ekitalo nti ddala yali musomi!
Kabaka Mwanga yalagira ayimbulwe mu kkomera atwalibwe ne banne e Namugongo bookebwe.
Ekiragiro kya Kabaka tekyamunyiiza yadde okumweraliikiriza bwatyo naye n’agattibwa ku banne neboolekera olw’e Namugongo n’attibwa ng’ayokebwa!
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K