Omujulizi Omutuukirivu Achileo Kiwanuka,
Ye muwolereza wa Bannamawulire, ba Mawuugulu n’abawandiisi.
Yoomu ku bajulizi abattibwa nga bakyali bato mu myaka, yattibwa alina 17 gyokka.
Yali Muganda eyeddira Olugave, ng’azaalibwa Omusajja Kyazze ne Nnassaza eyali yeddira Akasimba ku kyalo Luwagala mu Ssingo.
Kyazze kitaawe wa Achileo Kiwanuka yali mumyuka wa Mukwenda (Omwami w’essaza Ssingo) okumala ebbanga ddene ddala.
Kyazze yali muweereza mulungi nnyo era omwesimbu nti ne Achileo neyeegomba obukozi bwa kitaawe obwamuwa ettutumu mu bantu.
Ku myaka 15 gyokka, Achileo Kiwanuka yatwalibwa mu Lubiri okubeera omumbowa, yatwalibwa ne kizibwe we baweereze Omutanda waabwe.
Ababiri bano mu kugenda mu Lubiri baagenda n’ensiriba zaabwe nti okwetangira eddogo n’ebisiraani.
Baasangayo Kalooli Lwanga eyali Ssaabambowa, n’abaaniriza bulungi era buli omu n’amuwa obuvunaanyizibwa bwe.
Kiwanuka yaweebwa gwa kulabirira bigango mpozzi n’okutambuza obubaka (Messenger).
Lwanga yatandiikiriza mpolompola okubayigiriza eby’eddiini era nga 16 May 1886, Kiwanuka yabatizibwa.
Bano bwebakkiriza Kristu, ensiriba zaabwe zonna nebaziteekera omuliro olwo nga bifuusi bintu-katoole!
Kino kyanyiiza nnyo ab’ewaabwe ekyabaviirako n’okubagoba mu kika.
Kiwanuka ono nti yali muyimbi nnakinku era nga yasanyusaanga nnyo bambowa banne.
Ku lunaku lw’okutwalibwa e Namugongo, teyeesikaamu yadde okutya, bwatyo naye n’ateekerwa omuliro n’asirikka ku myaka 17 gyokka!
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K