Ekitongole ky’eggwanga ki Uganda Wildlife Education Center ekyayitibwanga Entebbe zoo, kitubudde n’enkula bbiri ezaalemererwa okuzaala wadde ekitongole kino kizisaasaanyaako ensimbi mpitirivu okuzirabirira
Dr James Mucunguzi akulira ekitongole kino asinzidde mu kakiiko ka parliament aka COSASE naagamba nti nabo ensonga z’enkula zino obutazaala zaabasobera dda, nti kubanga bazirabiridde bulungi mu mbeera zonna ezizisobozesa okuzaala.
Dr. James Mucunguzi agambye nti bingi ebinoonyerezeddwako n’ebikoleddwa okulaba ng’Enkula zino zizaala wabula bikyagaanye.
Enkula zino zaaletebwa mu mwaka 2001, nga kuliko enkazi eyitibwa Kabira n’ensajja eyitibwa Sherino.
Enkula zombi ez’ekika kya White Rhinos zaagyibwa Kenya mu Solio Ranch, n’ekigendelerwa eky’okwongera ku bungi bwazo wano mu Uganda.
Mu kiseera kino nga wetwogelera mu ttale lya Uganda teri yadde Nkula n’emu.
Eziriwo mu Uganda zisangibwa mu Zziwa Rhino Sanctuary e Nakasongola ng’eno kati waliyo Enkula 41 , nga zino zize zizaala okuviira ddala mu mwaka 2006 ekifo kino wekyatandikirawo nga kyalimu enkula 6 zokka.
Okusinziira ku Dr. Watuwa James omusawo ku Uganda Wildlife Authority agamba nti bakyanoonyereza okuzuula ekikyaganye eza ezikuumibwa mu Zoo e Ntebbe okuzaala.
Wabula waliwo okuteebereza nti Enkula zino olwokuba nti zikuze zonna okuviira ddala nga ntono, emu yalina omwaka gumu endala emyaka 2, z’andiba nga zetwaala nga ezoluganda yadde sibweguli .
Ebyo nga bukyali bityo, ekitongole kino era kyeralikirivu olw’omuwendo gw’empologoma ogukenderedde ddala mu ggwanga, era kigamba nti singa tewabaawo kikolebwa ekyamangu, amakuumiro ga Uganda ag’ebisolo gandiggwamu empologoma.
Dr.Rachel Mbabazi agambye nti abantu bayigga empologoma zino nebazitta, abalala baziwa obutwa songa endala zaasengukira mu ggwanga lya South Sudan.
Ekitongole kino ki UWEC gyebuvuddeko kyasaba obuwumbi 10 okuzaazisa n’ekulabirira empologoma 16 okwetoloola amakuumiro agatali gamu, ekyaaleetawo okukubagana empawa mu bannansi nga bagamba nti ensimbi nnyingi.
Dr. Rachel Mbabazi avunanyizibwa ku mpologoma mu kitongole kino ki UWEC agambye nti okuva bannansi lwebaatabuka ku nsonga y’obuwumbi 10 ezokuzaazisa empologoma zino,bazze batuukirira ebitongole ebikwatibwako okusalira awamu amagezi.
Ssentebe w’akakiiko ka COSASE Owek.Medard Lubega Sseggona abalagidde okwongera okunoonyereza amagezi ag’enkomeredde aganaayamba okutaasa empologoma za Uganda, wamu n’okuyamba enkula eziri e Entebbe okuzaala.
Ebifaananyi: Diana Kibuuka