Eggye lya UPDF litegeezezza nti omuntu eyattiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa ku kyalo Kambaala mu gombolola ye Maanyi mu district ye Mityana ye Ddamulira Yasin, ab’ebyokwerinda gwebaludde nga balinnya akagere.
Ddamulira Yasin yakubiddwa amasasi agamutiddewo mu kikweekweeto ekyakoleddwa UPDF nga 28 May,2024, mu kikwekweto ky’okufuuza abatujju abagambibwa okutega bbomu mu Kampala ezatirimbula abantu 6 n’okulumya abalala abasoba mu 30 mu mwaka gwa 2021.
Abakuuma ddembe baludde nga bamulinnya akagere saako okulumika essimu gyeyabadde akozesa okuwuliziganya ne banne, okutuusa mwebamutuuseko mu bitundu bye Mityana.
Abasirikale ba UPDF baamusanze mu kazigo ke kabadde yakapangisa ku kyalo Kambaala, era nti baamusanze n’emmundu ye era gyeyabadde agezaako okukozesa okuwanyisiganya ebyasi n’ababadde bamukwata, kwekumusinza amaanyi nebamukuba ebyasi ebyamuttiddewo.
Abatuuze bagamba nti omusajja eyattiddwa abadde yakasenga mu kitundu kyabwe emyezi 2 egiyise, n’apangisa ettaka okulimirako ennyaanya, era ng’abadde yajja n’omwana omulenzi ali wakati w’emyaka 8 -10.
UPDF etegeezezza nti oluvannyuma lwa bbomu ezaategebwa mu Kampala mu 2021 ku kitebe kya Police mu Kampala ne ku Parliamentary Avenue, banoonyereza nebazuula nga Musa Kabanda, amanyiddwa nga Akman, yeyakulemberamu olukwe lw’okuzitega, era yakwatibwa.
Kabanda yeyalonkoma beyali akaolagana nabo okuli Ddamulira Yasin abadde amanyiddwa nga Musuubuzi,, Abaasi Ssekimpi yakwatibwa era ali ku alimanda, wamu ne Nsubuga Sulaiman eyakwatibwa nga 27 April,2024.
Ddamulira naye babadde bamulinnya kagere okutuusa nga 28 May, 2024, eggye lya UPDF nga likolera wamu n’e ekitongole kya police ekirwanyisa obutujju bwebaamuzudde wabula n’akubwa ebyasi.
Amyuka omwogezi wa UPDF Col. Deo Akiiki agambye nti wakyaliwo abalala bebakyayigga okutuusa nga baweddeyo, nasaba bannauganda okukolera awamu n’ebitongole ebikuuma ddembe byonna singa babaako abantu bebekengedde mu bitundu byabwe.