Amasiro g’e Kasubi galangiriddwa nti gagiddwa ku lukalala lw’ebifo by’obuwangwa ebiri mu katyabaga, negazzibwa ku lukalala lw’ebifo eby’obuwangwa ebyenyumirizibwamu era ebisobola okulambulwa abalambuzi abava mu Uganda ne mu mawanga amalala.
Okulangirirwa kuno kubadde mu lukungaana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku byenjigiriza n’obuwangwa (UNESCO) olwa World Heritage Committee Olukubiririzibwa ssentebe Dr.Abdulelah Althokhais.
Olukungaana luno lugendereddwamu okuteesa ku ngeri y’okukuuma n’okunnyiza omugaso gw’ebifo ebyobuwangwa ebyenkizo naddala ebiri mu Africa nga bakozesa enkola za Technology ow’omulembe oluyindira mu Kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia.
Amasiro g’e Kasubi gaali gaggyibwa ku lukalala luno mu mwaka gwa 2011 oluvannyuma lw’abatamanyangamba okugateekera omuliro ku lunaku lwa Tuesday 16 March,2010 ennyumba enkulu eya Muzibwazaalampanga n’esaanawo.
Okuva olwo Obuganda bubadde bulwanagana okugazaawo.
Gyebuvuddeko Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweyasisinkana abakungu okuva mu UNESCO abaali bakulembeddwamu Lazare Eloundou director wa UNESCO World Heritage Center, bwebaali bakamaliriza okulambula omulimu gw’okuzaawo amasiro wegutuuse, yabategeeza obwetaavu bw’okuggya amasiro ge Kasubi ku lukalala lw’ebifo ebiri mu katyabaga, gasobole okuddamu okusikiriza abalambuzi.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde mu lukungaana luno oluyindira e Riyadh nga , nategeeza nti amasiro ge Kasubi gazimbiddwa ku mutindo ogwetaagisa, wadde nga wakyaliwo obuvujjirizi obwenjawulo obwetaagibwa okutaanya ebintu ebitonotono ebikyasigalidde.
Katikkiro agambye nti omulimu gwennyini ogw’okuzaawo amasiro gwatandika bulambalamba mu mwaka gwa 2013, ng’Obwakabaka bwa Buganda bukoleganira wamu ne government ya Uganda eyawakati, eya Japan, Norway n’ekitongole kya UNESCO.
Katikkiro agambye nti omulimu guno tegubadde mwangu olw’ebwetaavu bw’ebikozesebwa omuli ensimbi enkalu, abakozi ab’emirimu egy’ekikugu n’aby’obuwangwa (Wabulaakayole n’abalala) , ebikozesebwa omuli emmuli, essubi, ebinsambwe,enjulu,embugo n’ebirala.
Amasiro g’e Kasubi gaaterekebwamu ba Ssekabaka 4 okuli Muteesa I eyalamula Obwakabaka wakati wa 1835 ne 1884, Ssekabaka Mwanga II (1867-1903), Ssekabaka Daudi Chwa II (1896 -1939) ne Ssekabaka Muteesa II (1924-1969). Ssekabaka Muteesa yakisiza omukono mu buwanganguse mu Bungereza mu 1969, enjole ye nekomezebwawo mu Uganda mu 1971 neterekebwa mu masiro e Kasubi.
Jackline Nyiira Besigye akulira amakaddiyizo n’ebifo by’ennono mu Uganda era nga y’omu ku betabye mu lukungaana, agambye nti buno buwanguzi bwennyini bwebatuuseeko obwa UNESCO okuggya amasiro g’e Kasubi ku lukalala lw’ebifo ebiri mu katyabaga, nti kigenda kwongera okusikiriza abalambuzi okuva mu mawanga amalala n’okwongera ku nnyingiza y’eggwanga.#