Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibuuzo mu ekya Uganda National Examinations Board, (UNEB), kifulumizza ennambika enaagobererwa abayizi abagenda okutuula ebigezo by’akamalirizo eby’omwaka guno 2024.
Okuwandiisa abayizi kukomekkerezebwa nga 31 May,2024.
Abanaatuula PLE basasula 34,000/=
Abayizi abagenda okutuula P7 nga bakola ebya PLE, aba S.4 abagenda okutuula UCE bakusasula emitwalo 164,000/=, ate aba S.6 abanaakola UACE bakusasula emitwalo 186,000/=.
Abayizi abagenda okutuula PLE abali mu masomero ga government, sibakusasulira bigezo bya UNEB.
Ssenkulu wa UNEB Dan Nokrach Odongo, agamba nti amasomero ga government galina okwewala okuwandiisa abayizi abatali ku nteekateeka ya government nti kimenya mateeka.
Ebigezo bya miteeko 4, okuli aba PLE, aba UCE abasoma Curriculum empya, saako abagwa UCE omwaka ogwayita 2023 bagenda kutuula ebya Curriculum enkadde.m saako abagenda okukola UACE.
Abayizi abagwa ebya S.4 omwaka ogwayita 2023, abeewandiisa nebatatuula, naabo abaagala okwongera ku bubonero, bokka bebagenda okukirizibwa okutuula ebigezo mu curriculum enkadde.
Dan Odongo, agamba nti batandise okusomesa abasomesa abanaagolola ebibuuzo mu nkola empya ku mutendera gwa S.4, era UNEB esabye abayizi n’abakulira amasomero ku mutendera guno okusindika ebikwata ku bayizi wakati wa nga 4 June okutuuka nga 4 October,2024, era abataabituukirize ssibakukkirizibwa kutuula bibuuzo eby’akamalirizo.
Rose Mukasa Nabukenya, akulira ebibuuzo ku mutendera gwa Primary, agamba nti abayizi abaatula ebibuuzo mu mawanga amalala nga baagala okutuula ebyakamalirizo mu Uganda,UNEB ekyekenneenya ensonga zabwe.#