Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll asimye naatongoza enkola ey’okutumbula obulimi n’obulunzi mu Buganda okwongera kunyingiza ya bantu .
Ssabasajja Kabaka obubaka abutisse Nnalinnya Lubuga Agnes Nabaloga ku mukolo ogw’okutongoza Dream Hub Project.
Ppolojekiti eno egendereddwamu okutumbula eby’obulimi, obulunzi n’obutondebwensi mu Buganda, nga mu nteekateeka eno ekitongole kya Kabaka Foundation kyakukolera wamu nebannamukago aba Heifer International ekitakabana okutumbula eby’obulimi n’obulunzi.
Omukolo gwetabiddwako abaami b’amasaza ,Abamyuka babwe abegombolola abalimisa mu Masaza nabalala.
Munkola eno Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda muteebi ll alagidde abaami b’amasaza okubangula abantu be ku ngeri gyebagenda okugatta omutindo kubyebalima nebyebalunda kibayambe okwongera kunyingiza yabwe
Minister w’obulimi Obulunzi ,Obusubuzi n’obwegassi mu Bwakabaka Owek Haji Hamis Kakoma asabye abalimisa mu Massaza okukozesa omukago guno, okuyamba abantu ba Kabaka okunyikkira mu Bulimi n’obulunzi, era abasabye abalimi okukuuma obumu nga bawangana amagezi.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation omukungu Edward Kaggwa Ndagala agamba nti bagenda kuteeka ennimiro ez’okuyigirako mu buli Ssaza mwebagenda okubangulira abantu ku nnima n’ennunda ey’omulembe era nga enteekateeka eno egenda kutandiikira mu ssaza Busiro .
Akulira Heifer International mu Uganda William Matovu agamba nti munteekateeka eno bakusoosowaza nnyo ensonga y’okukozesa amasanyalaze g’enjuba okutumbula eby’obulimi n’obulunzi ,n’okukuuma Obutondebwensi .
Enteekateeka eno yakutambula ebbanga eritali ggere mu Buganda, nga yakutandikira mu Ssaza Busiro, edde e Kyadondo ne Kyaggwe n’amasaza amalala.
Bisakiddwa: Nakato Janiffer