Poliisi yetondedde Obwakabaka bwa Buganda olw’effujjo eryakoleddwa ku Butaka bw’ekika ky’Embogo e Mugulu mu Ssingo,omukka ogubalagala bwegwaakubiddwa mu bantu ba Katonda abaabadde batendereza omutonzi ,olwobulamu obulungi obwebibala bweyawa Omutaka Kayiira, omuli n’okumusobozesa okuweereza Ssabasajja.
Okwetonda kuno kugenze n’eeri ekeleziya Katolika , eri omutaka Kayiira Fredrick Kasibante Gajuule n’omusumba w’essaza lye Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa, abaakubwaamu omukka ogubalagala poliisi eyali ekulembeddwaamu omuduumizi waayo e Mityana Alex Mwiine Mukono.
Ayogerera poliisi mu bendobendo lya Wamala Rachael Kawala agambye nti ekyaaliwo ku lwomukaaga lwa ssabbiiti ewedde tekyabadde kigenderere, naasaba abaakikoze basonyiyibwe.
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu Katikiro Charles Peter Mayiga , bwavumiridde ebikolwa bya poliisi ebyeffujjo eri abantu bensi eno, byeyagambye nti byajolonze nnyo ennono n’Obuwangwa bwa Buganda.
Omusumba w’essaza lye Masaka John Baptist Kaggwa, negyebuli eno akyewuunya engeri effujjo lino gyelyakoleddwaamu, gyagambye nti abadde tagirozangako.