Police ekutte omukuumi wa kampuni yobwananyini Imurani Kizito, ku bigambibwa nti abadde akabasanya abaana ba mulekwa, abakuumibwa mu maka g’ekifo ekirabirira abatalina mwasirizi.
Abaana ba mulekwa baabadde akabasannya bali wakati w’emyaka 8 – 10.
Okusinziira ku mwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga, Imurani Kizito abadde akola akuuma ku wofiisi za Master tiimu ministries mu district ye Kamuli mu Busoga.