Ab’ebyokwerinda mu Uganda bakutte bannansi ba Burundi basatu abaali bayingira Uganda mu bukyaamu, basangiddwa Njeru municipality.
Abakwate ye Bitangaazi Modekayi emyaaka 21, Minaani Vincent emyaaka 25 ne Miburo Famin emyaaka 21, baayitira Katuna ne Mutukula okuyingira Uganda.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti abakwate babadde balina ebintu ebyenjawulo byebalondoola mu Uganda, era ng’ebigendererwa byabwe bakyabyekkeneenya.
Abantu abalala babiri abateeberezebwa okuba abayeekera ba Mai Mai bakwatiddwa , oluvannyuma lwokuyingira Uganda n’Emmundu mu bumenyi bw’Amateeka ekiteeka obulamu bwa bannauganda mu matigga.
Bisakidddwa: Kato Denis