Police ekutte abantu 4 abagambibwa okwenyigira mu bunyazi bw’emmotoka obukudde ejjembe mu bitundu bya Kampala.
Abakwatte ye Mugerwa Francis, Tabu John, Aneibyona Ashiraf ne Mukasa Wamala.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire agambye nti bano bakwatiddwa mu galagi emu egambibwa okuba nga ya Mukasa Wamala ebadde ekozesebwa okukyusakyusa ebikwatta ku mmotoka enzibe.
Oweyesigire era alabudde abagoba ba boda boda okubeera abegendereza ku bantu bebasaabaza, olw’obubbi bwa bodaboda obweyongedde, n’ettemu erikolebwa ku bannyinizo.#