Police ekutte abagambibwa okuba ababbi lukwe 15 mu Division y’e Kira mu district ye Wakiso.
Kigambibwa nti basangiddwa n’ebyuma ebikozesebwa okumenya amayumba, enjaga n’ebiragalalagala ebirala wamu n’ebyambalo ebyefaananyirizaako ebya police n’amagye.
Ekikwekweto kino kiyindidde mu bitundu okuli; Nsawo, Kyaliwajala ne Namugongo.
Abakwate ye; Syino Michael, Katumba Ashraf, Esere Hassan, Olowo Abeneko, Kasoma Emmanuel, Safari Yona, Bukenya Mudasiru, Mudu Salim, Sekandi Mustafa, Kikawa Stanley, Kabuye Ronald, Vumbi Enock, Nuwe John, Benjamin Ssali ne Kyasanku Godfrey.
Omumyuka w’omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agambye nti bano bebamu ku bali mu kabinja akabadde keetegese okunyaga abalamazi abatandise okutuuka ku biggwa by’Abajulizi e Namugongo.
Agambye nti bakyafuuza bonna okutuusa nga babamazeeyo, agumizza amalamazi nti eby’okwerinda byabwe binywezeddwa.#