Police y’e Kasana mu district y’e Luweero eriko omusajja gw’egombyemu obwala nga ye Joel Ssennyonga ow’emyaka 40, abayambeko kukunoonyereza ku nfa ya muganzi we Jalia Nantaba abadde atemera mu gy’obukulu 38 kyoka namufaako.
Omwogezi wa Police e Luweero Sam Twineamazima, agambye nti Ssenyonga omuvuzi wa taxi era omutuuze w’e Mabaale mu town council y’e Luweero, ababuulidde nti abadde yafunye muganzi we ono nebasiimagana era kwekumutwala ewaka we okwesanyusaamu, wabula nga wayiseewo emirundi egiwera, yagenze okulaba nga munne takyanyega, okugenda okumwetegereza ng’omukka gumuweddemu.
Mu kutya okungi Ssenyonga alina mukwano ggwe gweyakubidde agende amuyambe bafulumye omulambo babeeko webagusuula awone okumutuuza mu bigambo, kyoka yamuvuddemu natemya ku Police n’emukwata
Baliraanwa ba Ssenyonga bagamba nti Ssenyonga abadde atera okuleeta abakyala abenjawulo, wabula ng’omuntu nti abadde mukkakkamu era nga tebamuwulirangako mize mirala.
Wabula abamu ku basajja bavumiridde omuze gw’abamu ku bannabwe abasusse okukozesa ebiragalalagala ebingi ebibawa amaanyi agasukkiridde.
Bisakiddwa: Taaka Conslata