Ekitongole kya Buganda eky’ebyobulambuzi ekya Buganda Heritage and Tourism Board kinywedde akendo mu boolesi abaasobye 200, mu mwoleso gw’ebyobulambuzi ogwa Pearl Of Africa Tourism Expo – POATE 24 ogw’omulundi ogw’omunaana.
Omwoleso gumaze ennaku 3 nga guyindira ku Speke Resort Munyonyo Kampala.
Omudaala gwa Buganda Heritage and Tourism Board gwakoleddwa mu kifaananyi ky’amasiro g’e Kasubi, saako ebyobuwangwa bya Buganda ebirala byebaayolesezza.
Emmuli, embugo, essubi n’embugo by’ebimu kwebyo ebyeyambisiddwa okuzimba omudaaala guno era nga kino kyekyagufudde ogwenjawulo.
Ebbaluwa eyoleka okusiima Buganda Heritage and Tourism Board, olw’okunywa akendo mu boolesi abalala, awatali yadde okuvuganyizibwa,yabakwasiddwa omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyobulambuzi mu government ey’owakati Doreen Katusiime.
Yebazizza Buganda kawefube gwekoze mu kuzaawo amasiro g’e Kasubi nti kubanga ky’ekimu kubyobulambuzi ebikulu Uganda byerina.
Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board Omuk.Albert Kasozi agambye nti ebbanga libadde ddene ng’abantu balina enyonta y’amasiro era kwekusalawo ku mulundi guno okugoolesa, n’okubalaga bwegafaanana.
“Tuzze twetaaba mu mwoleso guna bukyanga gutandika emyaka 9 emabega, naye ku mulundi guno twasazeewo okusembeza amasiro eri abantu, kuba tukimanyi bulungi nti abantu bamaze abbanga lya myaka13 nga nga tebalambula masiro”.
Kasozi agambye nti bagenda kwongera okussa essira n’ekubifo ebirala eby’obulambuzi mu Buganda, omuli ennyanja ya Kabaka, saako n’ebifo eby’enkizo ebikwata ku matikkira gaa Kabaka.
Omwoleeso gweyobulambuzi guno gutegekebwa buli mwaka ab’ekitongole ekivunanyibwa okutumbula eby’obulambuzi mu ggwanga ekya Uganda Tourism Board – UTB, era nga gw’omulundi guno gwatambulidde ku mulamwa ogw’ebyobulambuzi ebissa essira ku butonde bwensi.
Obutafananaako ng’emyoleso egizze gibeerawo, ogw’omulundi guno gwayoleseza nnyo obuwangwa n’ennono bya Uganda ebitali bimu, okuyita mu nyambala, enyimba, amazina, n’ebivuga.#
Bisakiddwa: Diana Kibuuka