Police e Mubende enunudde omwana wa myezi 3, kigambibwa nti yabadde abbiddwa ku bazadde be.
Omwana ono azaalibwa Magezi Aaron ne Nakityo Rose, ab’e Kikona Cell, Kirungi Ward, South Division mu Mubende Municipality.
Omwana yabbiddwa ku Sunday nga 23 July 2023, nnyina bweyabadde amulese mu nnyumba okugenda ku luzzi.
Omukyala yakubidde bba okumutegeeza ku mbeera eno, baatandikiddewo omuyiggo naye nga buteerere!.
Abaana abaabadde bazannya bebategeezezza police nti baliko omusajja gwebaalabye ng’asitudde omwana nebagoba obuwuufu, okutuusa lwebasanza omwana ng’aganzikiddwa mu kasaka naye ng’akyali mulamu.
Omwogezi wa police mu bitundu bya Wamala Rachael Kawala agambye nti waliwo abantu bana bebakutte babayambeko mu kunoonyereza ku kikolwa kino.#