Kooti enkulu mu Kampala ekalize eyeyita Nabbi Elijah Kimera ow’emyaka 35 yebake mu nkomyo emyaka 40, asingisiddwa omusango gw’okukabasannya omwana ow’emyaka 16 abadde omugoberezi we namuzaalamu abalongo, nga kwotadde n’okumusiiga obulwadde bwa siriimu.
Kimera abadde asumba endiga mu kanisa ya Faith Centre Church of All Nations esangibwa e Lusanja mu Wakiso.
Obujulizi obuluma Kimera bulaze nti omusumba ono yasooka kuganza maama w’omuwala n’amuzaalamu abaana babiri, teyakoma awo ate natandika okukabasanya omwana myaka 16 okukakkana ng’amufunyisizza olubuto n’amuzaalamu abalongo, n’amusiiga n’obulwadde.
Omulamuzi Margrete Mutonyi agambye nti abakulembeze b’eddiini babeera bazadde babagoberezi babwe nga tekisaanye kubaganza, so ng’era kivve nnyo omuzadde okudda ku mwana omuto n’amukabasanya.
Omulamuzi Mutonyi alagidde Kimera aggalirwe mu komera okumala emyaka 40, waanaviirayo ng’ayize aleme kuddamu kukabasanya baana balala.
Agambye nti emisango gy’okukabasanya abaana giri waggulu, nga gikola ebitundu 70% ku misango gyonna egiwaabibwa mu kooti.
Omulamuzi alagidde Nabbi Kimera nti alina eddembe okujulira ekibonerezo ekimuweereddwa mu bbanga lya nnaku 14.
Bisakiddwa: Betty Zziwa