Nabbambula w’omuliro akutte ekisulo ky’abayizi abawala ku Ssomero lya Hildergard P/s erisangibwa mu gombolola ye Bukakata mu district ye Masaka mu kiro.
Ebintu by’abayizi byonna bisaanyeewo, wabula nga tewali muyizi yenna yazuuliddwa ng’afunye ebisago by’omuliro.
Amyuka akulira essomero lino Nanyonga Zaitun agambye nti bategeezezza police mu budde ng’omuliro gwakatandika, wabula emmotoka ezizikiza omuliro temubadde mazzi.
Omwogezi wa police mu greater Masaka Twaha ategezezza nti police ebadde etuuse mu budde wabula empiira ezisindika amazzi okuva mu mmotoka nezikyankalaana.
Bisakiddwa: Derrick Jjuuko