Nnaabbambula w’omuliro asaanyizaawo Bravo Cafe Restaurant ekibadde ku kizimbe kya Uganda House mu Kampala.
Okusinziira ku police, omuliro ghno gutandise ku ssaawa nga 11 ng’obudde busaasaana nga 5 April,2024, wabula okunoonyereza ku kyagenda mu maaso okuzuula kweguvudde.
Police y’abazinnyamwoto etuuse mangu okutaasa omuliro guno obutasaasaanira kizimbe kyonna ekya Uganda House.
Omuduumizi wa police ezikiriza omuliro Joseph Mugisha agambye nti byebakafuna biraga nti gwandiba nga guvudde mu ffumbiro era nga gusoose kubwatuka olwo negusaasanira ekifo kyonna.#