Omuliro ogugambibwa okuba nti guvudde ku masannyalaze gukutte essomero lya Kisaakye Nursery and Primary school erisangibwa e Kakeeka Mengo mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Omuliro gukutte mu biseera bya kalasamayanzi.
Police enzinnyamwoto etuuse mangu n’etaasa.
Tewanabaawo muyizi azuulibwa ngáfunye ebisago mu muliro guno.
Okobo Godfrey akulira police enzinnya mwoto agambye nti omuliro gutandikidde mu kisulo kyábayizi abalenzi negulanda negutuuka ku wofiisi eziriranyeewo negutuuka ku kisulo kyábayizi abawala.
Abayizi ababadde mu bibiina baddusiddwawo ku nebatwalibwa ku Muteesa I Royal University nebagira nga bakuumirwa eyo okutuusa omuliro lweguzikidde.
Abazadde abali okumpi bazze nebaweebwa abaana babwe nga bwebalinda embeera okudda mu nteeko.