Omukyala abadde yeggamye enkuba mu mmotoka ya taxi ebadde yasimbiddwa ku police mu Lubigi ku luguudo lwe Nansana afiiriddewo, ekipande ky’okukkubo bwekikubye emmotoka mw’abadde.
Afiriddewo ye Najjemba Midred abadde akolera ku nkulungo ye Namungoona ku Northern Bypass, ng’abadde abadde atunda bugoye obwomunda, n’eddagala ly’engatto.
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigire, agambye nti Najjemba ne banne abalala 2 babadde bayingidde taxi okweggama, wabula kibuyaga abadde mu nkuba efudembye asudde ekipande ekibadde okumpi nekigwira mmotoka eno mwebabadde, era banne abalala baddusidwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Bbo abatuuze ababaddewo ng’ekipande kigwa bagezezzako okwagala okutaasa omugenzi wabula nga buterere okutuusa police lwereese ekimotoka ekyabazinnya motto nekisika ekipande okuva ku mmotoka.
Abatuuze bavumiridde bannanyini bipande abasolooza obusolooza ssente nga tebafaayo ku bikuumira mu mbeera eyeyagaza n’okubirondoola oba nga bikyali bya mutindo.
Bisakiddwa: Davis Ddungu