Entiisa ebutikiidde abatuuze ku kyaalo Nakitokolo mu Kyengera Town Kanso,omusirikale Josephat Niwampayire akolera mu kampuni ekuuma ey’obwannanyini bwavudde mu mbeera nakuba mukyala we amasasi naye namala neyekuba
Omusirikale ono bwakubye mukyala we Amasasi alowoozezza amusse n’aye neyekuba amasasi mukifuba naye bombi tebafudde,era baddusidwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Abatuuze bavumiridde obukambwe obukozesedwa omusirikale ono ate nebavumirira n’abakazi abagatika abasajja, nti kubanga omusirikale abadde alumiriza omukazi okwagala mugandawe.
Omugenzi nga ye Gift Ainembabazi kigambibwa nti yafuna obutakkaanya ne muganziwe Josephat Niwampeyire, kyokka naasalawo okuganza mulamuwe Felix Ayebazibwe n’ekigendererwa ekyokulumya Niwampeyire.
Kigambibwa nti Omugenzi gyebuvuddeko yakatemye Felix Ayebazibwe nti abadde amwagala kulumya Josephat Niwampeyire era amukooye afune omwagalwa omulala.
Gift Ainembabazi bwabadde ava okutwaala Abaana ku ssomero ku makya, asanze eyali muganziwe Josephat Niwampeyire abadde akutte omugemera Wala, naamukuba amasasi mu lubuto naye oluvannyuma neyeekuba essasi mu Luba.
Omulambo gwa Gift Ainembabazi gutwaaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okweekebejjebwa , ssonga ne kalibutemu Ali mu ddwaliro lyerimu ajjanjabwa.
Omwoogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwaano Patrick Onyango, ategeezezza nti Niwampayire oluwona wakutwalibwa mu mbuga z’amateeka abitebye.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif