Police mu Kampala n’emiriraaano eggalidde omugoba wa mmotoka fuso namba UBB 891/J ateeberezebwa okweenyigira mu kutta omuntu mu bugenderevu, omulambogwe nagusuula mu luguudo wakati.
Bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza olwa leero nga 30 May,2024 okuliraana essundiro ly’amafuta erya Total e Kitende ku luguudo oluva e Ntebbe okudda e Kampala.
Kigambibwa nti waliwo abaalabye emmotoka eno ku ssaawa nga munaana ez’ekiro, nga waliwo munabwe eyagibaddeko nga bamusindika okuva ku mmotoka naagwa ku luguudo n’afiirawo, era emmotoka teyayimiridde neyeeyongerawo.
Aberabiddeko bino nga bigwako baayongedde okugoberera emmotoka eno okutuuka e Kisubi, nebafuna ebigikwatako, era ebiyambye police okukwata ddereeva waayo.
Omukwaate okusinziira ku katambi akasasaanidde emitimbagano yagezezzaako okwaagala okutomera abantu abaabadde bamunenya olw’ekikolwa ekyettemu.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire ategeezezza nti omukwate waakuwa police obujulizi bwonna obwetaagisa, era annyonnyole ekyamugye mu mmbeera natta munne.
Omulambo gw’Omusajja eyasuuliddwa mu luguudo gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mualago okwekebejjebwa.
Bisakiddwa: Kato Denis