Abaana mu Buganda baloopedde Maama Nabagereka Sylvia Nagginda ebizibu bye basanga gy’ebabeera ebibaviirako obutatusa ddoboozi lyabwe eri abalala.
Babadde ku mukolo ogwokukuza olunaku lw’abaana mu Buganda oguyiniidde mu Lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka e Mengo.
Lutambulidde ku mulamwa ogugamba nti Eddoboozi ly’abaana lya mugaso eri enkulakulana mu Buganda.
Lwetabiddwako abaana abasuuka mu 1000 okuva mu masaza n’amasomero agatali gamu.
Ebimu ku bizibu byebattottodde okuyita mu kukubaganya ebirowoozo mulimu;
Okutulugunyizibwa
Abaliko Obulemu obutafibwako
Abazadde okubakambuwalira ekisusse
Abazadde ababeera bayomba
Abazadde obutabeera nabudde bw’abaana.
Okuboggolerwa abantu abenjawulo
Abazadde okugaana abaan aokuzannya ne bannaabwe
Obutakutta bulungi n’ebirala.
Bino abaana bagambye nti bibaleetera okwennyika nekibaviirako okuziyiza Eddoobozi lyabwe okubeera wansi neritatuuka gyeririna kutuuka ku nsonga ez’enjawulo.
Ebirowoozo abaana babikubaganyirizza mu miteeko 3 egituumiddwa amannya okuli Ssekabaka Muteesa I,Ssekabaka Daudi Chwa ,Ssekabaka Suuna I .
Mububaka bwa Maama Nabagereka Sylvia Nagginda bwatisse Omuzaana Marion Nankya Wassajja asabye abazadde okuwa abaana babwe obusobozi n’okubaggulirawo emikisa basobole okubera abakulembeze abalungi abalimu ensa.
Mu ngeri yeemu Nabagereka akuutidde abaana okubeera abegendereza mu byebakola okuwuliriza abazadde agwanga lisoboole okubenyumirizamu mu bisera ebijja.
Minister wa Bulunjibwansi Obutondebwensi, Amazzi n’ekikula ky’abantu Owek Hajati Mariam Mayanja Nkalubo asabye abazadde okubeera ekyokulabirako ekirungi eri abaana.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Kyadondo Kaggo Ahmed Magandaazi asabye abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okwongera okufaayo ennyo eri omwana omulenzi nga bweguli ku bawala, bakule nga bamanyi obusobozi n’obuvunaanyizibwa bwabwe.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu abenjawulo okubadde ,Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda,Bassenkulu b’ebitongole nga bakulembeddwamu Omukungu Michael Kawooya Mwebe akulira CBS FM ,Bajjaja abataka abakulu aboobusolya,Abaami abamasaza ,Abakulembeze b’abakyala mu Massaza baminister ba Buganda nabalala.
Bisakiddwa: Nakato Janifer