Omumyuka wa president wa Uganda Rtd Major Jesca Alupo alagidde abakulembeze mu kitundu ekyo okulwanyisa obutabanguko obweyongera buli olukya, buzingamya enkulakulana.
Alupo bino abyogeredde Wankole mu district ye Kamuli, ku mikolo gyolunaku lwa’bakyala mu district eno.
Agambye nti obutabanguko mu maka buviiriddeko abaana abawala okufuna embuto nga tebanetuuka,okufumbizibwa nga tebeyagalidde, n’amaka mangi gasasise.
Asabye abazadde okufaayo obusomesa abaana baabwe kyenkanyi nga tebabasosodde, Busoga efune abakulembeze abobuvunanyizibwa abenkya.
Omubaka omukyala owa district ye Kamuli era nga mumyuuka asooka owa Ssabaminista Rebecca Kadaga, agambye nti kyannaku okulaba ng’abaana bangi abawanduka mumassomero ku myaka emito, nagamba nti kyongedde okukosa enkulakulana ye bitundu bya Busoga.
Bisakiddwa: Kirabira Fred