Abakristu okuva mu kigo kye Lweza mu Kampala Archdiocese bakyaliddeko Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, n’abasaba okwenyigira mu bukulembeze ku mitendera egyenjawulo okukulaakulanya Eklezia, olwo emirimu gya Katonda gitambule.
Bamusanze mu Bulange e Mengo, n’abategeeza nti okukulaakulanya Eklezia tekyetaaga Bantu batitiizi, wabula abo abasobola okwaηaanga ebisomooza era nebabisalira amagezi.

Katikkiro mungeri eyenjawulo yeebazizza abakulembeze abeewaddeyo okutumbula enkulaakulana, nga bawagira entekateeka z’Obwakabaka naddala ez’Emwaanyi Terimba, Luwalo Lwange n’Entekateeka endala, naabasaba obutassa Mukono.
Ssaabakristu w’Ekigo kye Lweeza Nsimbe William era nga ye mukubiriza w’Olukiiko lw’Essaza Mawogola, yebazizza Kamalabyonna wa Buganda olw’Amaanyi gaatadde mu kusitula Obwakabaka, ng’akubiriza abantu ba Beene okukola ennyo n’Okuyitimusa ekitiibwa kya Kabaka.
Bisakiddwa: Kato Denis