Obwakabaka bwa Buganda busabye Eklezia ebukwasizeeko mu kaweefube gwebuliko ow’Okusitula embeera z’abantu okuva mu bwavu, nga bubakubiriza okwettanira okulima ebirime ebivaamu ensimbi ate nga biwangaazi, saako okulima emmere ewera ey’okulya.
Obubaka buno buweereddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, bw’abadde akyazizza omusumba Omulonde ow’Essaza lya klezia Kasana Luweero Musonyooli Lawrence Mukasa Lutwama mu Bulange e Mengo.
Katikkiro asabye Omusumba Omulonde okugumiranga ebisomooza mu buweereza, kyokka mungeri yeemu naasaba abantu ba Mukama mu ssaza lya Kasana Luweero okuwagira entekateeka z’Omusumba ez’Okusitula essaza lino.
Amuwadde amagezi nti ng’omukulembeze asookere kukutema mpenda ezinaamuvvuunusa okusoomozebwa okwenjawulo okumwolekedde, n’okukubiriza abantu okukola ennyo balwanyise obwavu.
Musonyooli Ssemusu wakutuuzibwa nga 5 August, 2023.
Musonyooli Lawrence Mukasa Lutwama mu bubakabwe, yeebazizza Omutonzi olw’obulamu obulungi bwamuwadde n’obunyiikivu okuweereza Eklezia, naasaba abantu ba Katonda okumujagulizaako nga 5/8/2023 bwanaaba atuuzibwa okukulembera essaza.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebyafaayo bya Msgr Lawrence Ssemusu
Paapa Francis yalonze Msgr. Lawrence Mukasa okudda mu bigere bya Ssaabasumba Paul Ssemogerere, eyali omusumba w’essaza lye Luweero.
Msgr Lawrence Mukasa yazaalibwa nga 14 March,1957 e Namwiri mu ssaza lya Kiyinda Mityana.
Yasomera ku minor seminary e Kisubi, gyeyava nagenda ku Saint Thomas Aquinas National Major Seminary Katigondo mu ssaza lye Masaka gyeyakuguka mu masomo ga Phyilosophy.
Bweyava e Katigondo yegatta ku Saint Mary’s National Major Seminary e Ggaba mu Kampala Archdiocese gyeyakugukira mu ssomo lya Theology..
Msgr Lawrence Mukasa yatuuka ku kkula ly’obusasolodooti nga 24 June 1984 n’atandika obuweereza mu ssaza lya Kiyinda Mityana.
Yabutandikira mu kigo kye Bukalagi mu 1984.
Mu 1985 – 1986 yali mu kigo kye Naluggi.
Okuva mu 1986 – 1990 yali mu Saint Thomas Aquinas National Major Seminary e Katigondo.
Mu 1990 yeyongerayo okusoma okutuuka mu 1992 n’akuguka mu byafaayo by’eklezia ng’asomera mu Pontifical Gregorian University e Rome.
Bweyakomawo kuno oluvannyuma lw’emisomogye yaddayo okusomesa ku Saint Thomas Aquinas National Major Seminary Katigondo ng’atuuse ku ddaala lya Professor, era yeyali akulira eby’okulyowa emyoyo mu seminary eyo wakati wa 1992 – 1997.
Mu 1997 yafuulibwa Bwanamukulu w’ekigo kye Bukalagi okutuuka mu 2001.
Bweyava eyo yaweerezebwa okusomesa mu Saint Mbaaga’s Major Seminary mu archdiocese ye Kampala wakati wa 2001-2005.
Okuva mu 2005 y’abadde vicar general w’essaza lya Kiyinda Mityana era y’abadde akulira abasasorodooti baayo.#