Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kirangiridde Morley Byekwaso ng’omutendesi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes ow’ekiseera ku ndagaano ya mwezi gumu.
Morley Byekwaso mu kiseera kino akolanga omumyuka w’omutendesi ku club ya Villa Jogo Ssalongo eya Uganda Premier League, agenda kubeera mu mitambo gya Uganda Cranes okutuuka nga 31 omwezi guno ogwe 10.
Morley Byekwaso ku mulimu gwa Uganda Cranes agenda kumyukibwa Fred Muhumuza, Stephen Billy Kiggundu ye mutendesi wa bakwasi ba goolo ate nga Felix Ayobo ye mutendesi wa dduyiro.
Bino bigidde mu kiseera nga FUFA yeteekateeka okulangirira omutendesi omugya owa Uganda Cranes agenda okudda mu bigere bya Micho eyagobwa ku mulimu guno olw’omutindo ogw’ekiboggwe.
Mu mbeera eno FUFA yamalirizza okusunsulamu abegwanyiza omulimu guno kyokka bannayuganda tebajjumbidde, nga ku batendesi 245 abasabye omulimu guno, bannayuganda 2 bokka bebataddemu okusaba kwabwe.
Abatendesi ab’ekiseera abalondeddwa be bagenda okubeera mu mitambo gya Uganda Cranes bweneeba ettunka ne Mali nga 13 October,2023 ne Zambia nga 17 era omwezi guno e Dubai, nga emipiira gyonna gya mukwano.
Mu kiseera kye kimu omutendesi ow’ekiseera Morley Byekwaso alangiridde ttiimu yabazannyi 36 okutandika okwetegekera emipiira gino, era bakuyingira enkambi ku lw’okutaano luno ku Cranes Paradisse Hotel e Kisaasi.
Abamu ku bazannyi ye Milton Kaliisa owa Vipers, Frank Ssebuufu ne Ibrahim Kasule abazannyi mu New York Red Bulls II eya America, Saidi Mayanja owa KCCA, Enock Walusimbi owa URA, Kenneth Kimera owa Villa Jogo, Charles Lukwago owa Hawassa City eya Ethiopia, Joel Mutakubwa owa BUL, Usama Arafat Kizza owa KCCA n’abalala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe