Minister w’ensonga z’e Kalamoja Mary Gorret Kitutu ne mwannyina Naboya Kitutu Micheal basindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 12 April,2023 lwebanakomezebwawo mu kooti bewozeeko ku by’okubulankanya amabaati ga government.
Minister avunaaniddwa emisango 6, omuli okukozesa obubi wofiisi, okwezza ebintu bya government( amabaati 9000), enguzi, okwekobaana babbe, n’okusaangibwa.n’ebibbe.
Emisango gino gyonna agyegaanye.
Kigambibwa nti emisango gino yagizza wakati wa June 2022 ne January 2023.