Minisiter omubeezi avunaanyizibwa kukuteekerateekera eggwanga Amos Lugoloobi asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 20 April, 2023 kooti lwenaawulira okusaba kwe okw’okuyimbulwa ku kakalu ka kooti.
Minister Amos Lugoloobi era nga ye mubaka wa Ntenjeru North mu Kayunga agguddwako emisango 2 kubigambibwa nti yezibika eminwe gy’amabaati 700 agaali galina okuweebwa abantu be Kalamoja, nga bino byonna byaliwo wakati wa 14 July 2022 ne February 2023.
Bannamateeka be abakulembeddwamu John Isabirye ne Tonny Tumukunde basabye omulamuzi wa kooti ewozesa abalyake n’abakenuzi Abert Asiimwe, nti omuntu wabwe ayimbulwe ku kakalu, olw’obulwadde bwa ssukaali, omutima ne Asima ebimubala embiriizi, wabula kooti tebiwulirizza.
Batuuse n’okwanja ebika by’eddagala 20 minister byalina okufuna, byonna basiye nsaano ku mazzi.
Abantu 7 bebabadde baleeteddwa okweyimirira minister Lugoloobi, okuli Mariam Naigaga omubaka omukyala ow’e Namutumba, James Kakooza omubaka akiikirira Uganda mu EALA, Dr. Kefa Kiwanuka omubaka wa Kiboga East, Paul Mugambwa Ssempwa ono yeyali bestman wa Lugoloobi ku mbaga ye eyaliwo nga 4 December,1990, era yaliko Ambassador wa Uganda e Brazil, Martin Ssekajja owa Uganda security printing company, Kalisa Moses Karangwa ne Joseph Muvawala Katuukiro we Busoga era ssenkulu w’ekitongole kya National Planning Authority of Uganda.
Wabula omuwaabi wa government agambye nti omuwawabirwa minister ate mubaka wa parliament nga singa amala gateebwa ayinza okutaataganya okunoonyereza ku misango, era n’ategeeza nti abakulira ekkomera e Luzira balina obusobozi obumanya ekiseea omuntu ky’abeera yetagira okutwalibwa mu ddwaliro singa abeera aliko obujanjabi bweyetaaga.
Minister atuusiddwa ku kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo mu Kampala ku ssaawa nga zikunukkiriza omukaaga n’aggulwako emisango gy’obulyake, ng’alangibwa kwenyigira ku kwekomya agamu ku mabaati agaali ag’abawejjere e Kalamoja.
Minister asoose kutwalibwa mu kkomera lya kkooti eno agire ng’akuumibwa eyo, okutuusa saawa munaana lwasimbiddwa mu kaguli.
Lugoloobi yakwatibwa police ku Friday n’aggalirwa mu kaduukulu ka police y’e Kira, gy’agiddwa atandike okuwerennemba n’emisango.
Minister Lugoloobi yeyunze ku minister w’ensonga z’e Kalamoja Mary Gorreti Kitutu eyaggulwako edda emisango gy’okwezza eminwe gy’amabaati 14,500 era yasibwa okumala ennaku 8 okutuusa lweyayimbuddwa wiiki ewedde ku kakalu ka kkooti.
Wofiisi ya Ssaabawaabi wa government aliko ne ba minister abalala bekyateekateeka fayiro zabwe nabo bavunaanibwe.