Olutalo lusitudde buto enkundi mu kibiina kya Democratic Party mu Uganda,oluvanyuma lw’omulamuzi wa kooti enkulu Philip Odoki okukawangamula nti obukulembeze bw’ekibiina kino obukulemberwa Nobert Nobert tebwalondebwa mu mazima nabwenkanya
Omulamuzi Odoki okuwa ensala eno kidiridde omu ku ba memba b’ekibiina kya DP Kiwanuka Benedict Galiko okuddukira mu kooti eno nga agamba nti tabamiruka w’ekibiina kino eyaliwo nga 18-20 September 2023 e Gulu teyali w’amazima, nti kubanga abantu abasinga abaali begwanyiza ebifo babasibira bweru.
Omulamuzi alaze nti okulondebwa kwa president wa Dp Nobert Mao kwalimu amatankane mangi ,era nalagira nekibiina kiriyirire ,Kiwanuka Benedict ensimbi zaasaasaanyiriza mu musango guno.
Benedict Kiwanuka Galiko bwabadde eyogerako ne banna mawulire agambye nti ekyamutwala mu kooti yali ayagala kununula kibiina kyabajajabe kyagamba nti kyayingizibwa mu kibiina kya NRM.
Agambye nti asanyukidde eky’omulamuzi okugamba nti ttabamiruka wa Dp eyatuula e Gulu nti tekwali kulonda wabula kwali kwegabira bifo
Kamya Kasozi nga yaliko omuyambi w’omukulembeze wa.DP Nobert Mao naye agamba nti yagobwa bugobwa mu kibiina, era nti ekkubo lyebakutte bandinunula ekibiina kyabwe
Wabula cbs bwetukiridde ssabawandiisi w’ekibiina kya Dp Gerald Siranda kunsala y’omulamuzi agambye nti baajifunye, era nti bamaze okujulira mu kooti nti kubanga banna mateeka b’ekibiina kino bebakira ku mulimu nebatakola mulimu gwabwe bulingi.
Siranda akalambidde nti tewali ayinza kubaggya mu buyinza obukulembera DP nti kubanga baalondebwa bantu.
Siranda akinoganyiza nti tebagenda kukkiriza banna kigwanyizi kutaataaganya kibiina,era agambye nti awulira nga ayagala okuwangula obuyinza bwa DP alinde kulonda okuliddako okw’ekibiina besimbewo.