Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abavubuka bettanira Obufumbo obutukuvu, bwebabeera bakutuuka ku buwanguzi obwenjawulo, era obufumbo Mpaji nkulu ku nkulaakulana y’eggwanga n’Obwakabaka.
Abadde yeetabye mu kusaba kw’okugatta abagole Simon Ssenkaayi omuweereza mu Bwakabaka n’Omukyala Rose Sylvia Nakafu, mu Lutikko e Namirembe.
Katikkiro asabye abavubuka obuteekwasa busongasonga mu bufumbo, wabula babubeeremu ate babufuule eggunjuliro.
Katikkiro mungeri yeemu asabye abagattiddwa buli omu okubeera ab’empisa era abawulize eri munne.
Omulabirizi we Namirembe eyawummula Wilber Force Kityo Luwalira yagasse abagole, era asabye bannaddiini abagatta abagole obutabamalaamu Maanyi nga bawa Obubaka obubatiisa Obufumbo, wabula babazzeemu essuubi.
Owek. Robert Sserwanga Ssalongo n’Omukyala Agnes Sserwanga bebabadde abajulizi b’Abagole, era embaga Eno yatabiddwako ebikonge mu Bwakabaka omubadde ba Ba Minister, abaweereza mu bitongole by’Obwakabaka byonna.
Bisakiddwa: Kato Denis