Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abavunaanyizibwa ku by’amafuta ga Uganda, nti ensimbi ezigenda okuva mu mafuta ago zikozesebwe ku bintu ebikulakulanya bannauganda bonna okulwanyisa obwavu.
Katikkiro asissinkanye abakulira Kampuni ya East African Crude Oil Pipe Line abali ku mulimu gw’okuzimba omudumu ogutambuza amafuta okuva e Bunyoro okutuuka e Tanga mu Tanzania.
Bamusanve ku Mbuga enkulu mu Bulange e Mengo n’abasaba nti ensimbi eziva mu mafuta zikozesebwe n’obwenkanya, naddala nga zikola mu kuzimba enguudo , amalwaliro, okutumbula ebyobulimi nebirala ate nga byamutindo.
Mu ngeri yeemu Katikkiro asabye abazimba Omudumu guno okuteekawo enkulakulana erabwako ey’olubereera mu bitundu gyebakolera emirimu abantu bagyiganyulwemu.
Ssenkulu wa Kampuni ya East African Crude Oil Pipe Line Guillame Dalout asabye obwakabaka okubawagira mu mbeera yonna okuggusa omulimu gwebaliko okuzimba omudumu oguva eBunyoro okutuuka e Tanga.
Omumyuka Owookubiri awa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategezeza nti Obwakabaka bwakuwagira enteekateeka zonna ezikulakulanya eggwanga, era naye asabye abali ku mulimu gw’okuzimba omudumu gw’amafuta okuteekawo enkulakulana omuli amalwaliro , Amasomero n’ebirala.
Rose Birungi Adyeri avunanyizibwa ku by’Ettaka mu Project eno agambye nti abantu mu Uganda 3,759 bebalina ettaka erigenda okuyisibwako omudumu, nga ku bano kuliko abali mu Buganda 2.190.
Agambye nti Ettaka lino liri mu District 7 era nga bannyiniryo abasiinga bamala dda okuliyirirwa.
Matred Birungi nga yavunanyibwa ku mbeera z’abantu n’obutonde bwensi mu project eno ategeezeezza nti nga bazimba omudumu bafuddeyo ku bulamu bw’abantu n’okukuuma obutonde bwensi nga basimba emiti nebirala.
Ensisinkano eno yetabiddwako ba minister ba Buganda n’abakungu abalala bangi.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius